TOP

Dr. James Mulwana afudde

By Musasi Wa

Added 15th January 2013

Munnamakolero omututumufu Dr.James Mulwana afudde enkya ya leero (Lwakubiri), mu ddwaaliro e Nakasero.

2013 1largeimg215 jan 2013 104510163 703x422

Bya Frank Lukwago ne Catherine Lutwama

MUNNAMAKOLERO omututumufu, Dr.James Mulwana afudde enkya ya leero (Lwakubiri), mu ddwaaliro e Nakasero. 

Mulwana (76), afiiridde mu ddwaaliro lya Case Clinic, e Nakasero mu Kampala, era obulwadde obumusse tebunnategeerekeka, kyokka abasawo bagamba nti okulumizibwa mu lubuto kye kimuviiriddeko okufa.

Dr. Mulwana amaze mu busuubuzi emyaka egisoba mu 50 era nga ye yatandikawo ekkolero lya Nice House of Plastics Limited mu 1970, era mu 1991 n'atwalira ddala obwannannyini mu kkampuni ya Uganda Batteries Limited.

Mu August w’omwaka oguwedde (2012), Mulwana ajjukirwa nnyo bwe yavaayo n'ayogera ku mateeka g’oku nsalo za Uganda n'amawanga amalala, bwe gali amanafu, agakkiriza Abagwira okuyingira eggwanga kyere nga tewali abakuba ku mukono, ekiviiriddeko Abachina okwenyigira mu bizinensi entono ezitagya mu bayinvesta b'osuubira okututumula eby'enfuna by'eggwanga n'okwongera ku bungi bw'emirimu eri bannansi.

Era ye nnanyini faamu ya JESA efulumya amata n’ebiva mu mata eby’enjawulo wano mu Uganda ne Rwanda, awamu ne JESA Investments Limited ne Nsimbe Estates Limited erima ebimuli.

Mu 1988 yakuliramu bannamakolero banne ne bazuukiza ekibiina kya bannamakolero mu Uganda ekya Uganda Manufacturers Association era nga ye yasooka okuba ssentebe waakyo okutuusa mu 2000.

Mulwana w'afiiridde nga ye ssentebe w’olukiiko olufuzi olwa bbanka ya Standard Chartered.

Ebirala ebikulu ku Dr. James Mulwana:

 

  • Mu 1967, yatta omukago n'Abangereza, aba kkampuni ya Chloride (UK), ne batandikawo kkampuni ya Associated Battery Manufactures Ltd, oluvannyuma eyeetongola ku Bazungu n'efuulibwa Uganda Batteries Ltd mu mwaka gwa 1990.
  • Mu 1970, yatandikawo ekkolero lya Ship Tooth Brush Factory Ltd; kati eriyitibwa Nice House of Plasitics, erikola ebintu by'omu maka ebya pulaasitiika omuli; obusenya amannyo, amabaafu, amasowaani, ebikopo, obutebe n'ebirala njolo.
  • Mu 1988, Mulwana yazza buggya ekibiina kya Uganda Manufactures Association era n'afuuka ssentebe waakyo okutuusa mu mwaka gwa 2000.
  • Mu 1996, yalondebwa ku bwa ssentebe w'ekibiina kya Private Sector Foundation Uganda Limited.
  • Abadde mmemba ku kibiina kya International Finance Corporation Business Advisory Council.
  • Abadde mmemba ku lukiiko olufuzi mu kkampuni ya Insurance Company of East Africa.

  • Abadde ssentebe w'ekibiina kya East African Business Council, ekikulu ennyo mu mawanga agali mu mukago gwa East African Community omuli; Uganda, Kenya  Tanzania,  Rwanda and Burundi.
  • Abadde ssentebe ku lukiiko lwa Board of Trustees mu kkampuni ya Eskom (U) Ltd, ekola amasannyalaze mu Uganda.
  • Mulwana era abadde ssentebe w'akakiiko akawi k'amagezi n'okuwabula mu kibiina kya Uganda Manufactures Association (UMA).

Mulwana alese nnamwandu omu n'abaana basatu.

KITALO!!!

Tujja  kukutuusaako ebirala ku Mulwana.

 

 

 

 

Dr.James Mulwana afudde

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.