TOP

James Mulwana alese ekiraamo ekikambwe

By Musasi Wa

Added 16th January 2013

MUNNAMAKOLERO Dr. James Mulwana alese ekiraamo ekikakali ekitadde abakungubazi n’abakola ku by’okuziikwa kwe ku bwerende.

2013 1largeimg216 jan 2013 133221853 703x422

Bya AHMED MUKIIBI NE ERIA LUYIMBAAZI

MUNNAMAKOLERO Dr. James Mulwana alese ekiraamo ekikakali ekitadde abakungubazi n’abakola ku by’okuziikwa kwe ku bwerende.

Mulwana yafiiridde mu ddwaaliro e Nakasero ku ssaawa 10:00 nga bukya ku Lwokubiri, oluvannyuma omulambo gwe ne gutwalibwa ku Case Medicare ku Buganda Road gye baagulongooserezza nga tebannagutwala Masiriba mu Ssingo gy’azaalwa.

OBULWADDE BUMULUMIDDE EMYAKA 20
Mulwana 76, aludde ng’atawaanyizibwa obulwadde bw’omu lubuto era atwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo agawerako naddala ag’ebweru, enfunda nnyingi.

Omu ku bammemba ba famire yagambye nti obulwadde buno bumaze emyaka egisukka mu 20 nga bumutawaanya era emyaka munaana emabega, yatwalibwako e Nairobi mu Kenya n’alongoosebwa olwo n’atereeramu okumala ekiseera.

Muwala we Barbara Mulwana yategeezezza Bukedde nti, obulwadde bwa kitaabwe obw’olubuto bwattuse mu kiro ekyakeesezza Mmande ne bamutwala e Nakasero abasawo ne batandika okumujjanjaba.

Abasawo baamazeeko olwa Mmande lwonna nga bakola butaweera okulaba ng’embeera ya Mulwana etereera, wabula zaabadde ziwera ssaawa 2:00 ez’ekiro, embeera n’esajjuka.

Mikwano gye ab’oku lusegere baatandise okukung’aanira ku ddwaaliro e Nakasero nga balina ekirowoozo ky’okumutwala ajjanjabirwe ebweru w’eggwanga kyokka ne kitasoboka olw’embeera eyabadde yeetaaga obwegendereza obw’enjawulo nga kiyinza okubeera eky’obulabe okumulinnyisa ennyonyi nga tamaze kusooka kutereeramu.

Wadde abasawo e Nakasero baakoze ekisoboka okulaba nga Mulwana atereera, obulwadde bwagenze mu maaso, n’ayongera okussa obubi; ng’omukka abaka mubake era n’assa omukka ogw’enkomerero ku ssaawa 10:15.

Eno gye yaggyiddwa ku Lwokubiri ku makya n’atwalibwa ku Case Medicare. Ku ssaawa mukaaga ez’omu ttuntu ku Lwokubiri, aba Uganda Funeral Services baggye omulambo ku Case ne bagutwala.
Mulwana aziikibwa ku Lwokusatu ku biggya bya bajjajja be e Masiriba ku luguudo lw’e Hoima ku ssaawa munaana ez’olweggulo.


Aba Uganda Funeral Services nga baggya omulambo gwa Mulwana mu ggwanika lya Case Medicare ku Buganda Road. Ekif; Eria Luyimbaazi.

Ebikulu mu kiraamo
MULWANA alese ekiraamo ekitali kya bulijjo. Era waabaddewo okusika omuguwa ku buwaayiro obumu bwe yakissaamu ng’abooluganda abamu naddala ab’ekika ky’Emmamba Gabunga tebakkaanya nabwo. Ebimu ku bibatabudde bye bino:

• Yalaama okuziikibwa mu bwangu era nti bw’aba afudde ku makya, tebamusuzaawo ate bw’aba afudde kiro, bamuziike enkeera.

• Yagaana abantu okubikkula omulambo gwe. Wabula kino ab’ekika nakyo baabadde bakyakisimbira ekkuuli.

• Omulambo gwe yagaana okugutwala mu maka ge ag’e Kansanga mu Church Zooni n’aleka ng’alaamye nti bwe guggyibwa mu ddwaaliro, gutwalibwe butereevu gy’azaalwa e Masiriba mu Ssingo.

Kino nakyo ab’ekika abamu baakiwakanyizza nga bagamba nti ssemaka bw’afa, omulambo gulina okutwalibwako mu nnyumba ye. Wabula Nnamwandu Sarah Mulwana n’abategeeza nti n’e Masiriba nago gabadde gatwalibwa ng’amaka gaabwe.

• Yalaama n’obutatwalibwa mu Kkanisa wabula nti bamutwalanga butereevu ku kiggya kya bajjajjabe e Masiriba mu Ssingo, we baba bategekera okusaba.

Ku makya g’Olwokubiri Nnamwandu Sarah Mulwana ne mikwano gya Mulwana okwabadde Hajji Majid Baagalaliwo, Samwiri Mugwisa, Geoffrey Ntulume, Lawrence Kyolobi n’abalala baatudde mu lukiiko mu maka g’omugenzi e Kansanga okuttaanya enteekateeka z’okuziika nga bagoberera ebiri mu kiraamo.

Mu lukiiko luno Muky. Mulwana yakkaatirizza nti: Baze yang’amba nti bw’afa ku makya, olweggulo nga tumuziika awatali kwekwasa nsonga yonna, gamba ng’ey’omwana ayinza okusangibwa ng’ali bweru wa ggwanga, n’agamba nti bw’alisanga nga bamaze okuziika alimussaako ekimuli.

Kyokka abasinga obungi ku baabaddewo naddala ab’ekika n’abeemikwano baakisimbidde ekkuuli era ne bakkaanya bongereyo olunaku lumu, bamuziike ku Lwokusatu ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo e Masiriba mu Ssingo.

Abalala abaabaddeyo kuliko Omulangira Kassim Nakibinge, Sipiika wa Buganda Hajji Kaddu Serunkuuma, John Ssebaana Kizito, Polof. Gordon Wavamunno, Aga Sekalala, Gerald Sendaula, Sarah Baagalaliwo, Maama Mbire, Capt. Gertrude Njuba n’abalala.

Mu bakungubazi abaagenzeeyo okusaasira Nnamwandu ne bamulekwa kwabaddeko ne Nnaabagereka Sylvia Nagginda.

 

James Mulwana alese ekiraamo ekikambwe

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...