TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Sudhir awambye edduuka lya Ssebaggala lwa bbanja

Sudhir awambye edduuka lya Ssebaggala lwa bbanja

By Musasi Wa

Added 24th January 2013

EDDUUKA ly’omugagga Meddie Sebaggala erya Ssebaggala and Sons Electro Centre mu Kiyembe eritunda ey’ebyamasannyalaze liwambiddwa nnagagga munne Sudhir Ruparelia olw’ebbanja lya buwumbi musanvu.

2013 1largeimg224 jan 2013 100212307 703x422

Bya Ahmed Mukiibi ne Joseph Mutebi

EDDUUKA ly’omugagga Meddie Sebaggala erya Ssebaggala and Sons Electro Centre mu Kiyembe eritunda ey’ebyamasannyalaze liwambiddwa nnagagga munne Sudhir Ruparelia olw’ebbanja lya buwumbi musanvu.

Sudhir edduuka yalitutte ku Lwokutaano oluwedde ng’ayita mu banka ye Crane Bank, Ssebaggala mwe yeewola ssente ezikunuukkiriza mu buwumbi buna emyaka munaana egiyise, wabula ne zijja nga zirinnya okutuuka mu buwumbi musanvu bw’abanjibwa mu kiseera kino.

Omu ku bakozi b’omugagga Sudhir yategeezezza nti mukama we aludde ng’abanja Ssebagala obuwumbi omusanvu bwe yamuwola emyaka egisukka mu munaana emabega kyokka nga buteere.

“Edduuka lyandibadde lyatwalibwa dda naye nga waliwo bagagga banne ba Ssebaggala ab’ekibiina kya Kwagalana ababadde bamwegayiirirako ewa Sudhir okutuusa lwe byalemye ng’ebbanja lyeyongera kulinnya,” bwe yategeezezza.

Ku Mmande waliwo ekirango ekyassiddwa mu mawulire ga New Vision nga kitegeeza nga bbanka ya Crane bwe yawadde obuyinza Patrick Kisaliita owa kkampuni ya Ken Associates okuddukanya edduuka lino okutuusa ng’aggyeemu ssente ezisobola okusasula ebbanja.

Mu kirango, kkampuni ya Ken Associates egenda kuddukanya edduuka lya Ssebaggala ku lwa Crane Bank.

Okuva ku Lwokutaano oluwedde nga January 18, 2013, buli muntu oba kkampuni erina ensonga yonna ne Ssebaggala &Sons Electro Centre ateekwa kukolagana ne Kisaliita.

Badayireta ba Ssebaggala & Sons Electro Centre baalagiddwa okweyanjula eri Kisaliita okuwa sitatimenti ku bikwatagana ne kkampuni eno.

Ekkolero n’amayumba ge nabyo bigenda

Ensonda zaategeezezza nti si dduuka lyokka wabula n’ebyobugagga bya Ssebaggala ebirala byolekedde okulugenda kubanga Sudhir amaliridde okununula ensimbi ze ze yamuwola.
Ku byobugagga bye ebyolekedde okulugenda mulimu; ekkolero lya payipu z’amasannyalaze erisangibwa mu bitundu by’e Ntinda n’amayumba ge mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Maneja wa Crane Banka, A. Klan bwe yatuukiriddwa ku nsonga za Ssebaggala yagambye nti nkola yaabwe obutasamwassamwa ne byama bya bakasitoma baabwe mu mpapula z’amawulire.

Kigambibwa nti Ssebaggala alina n’amabanja amalala mu basuubuzi n’abantu abalala era nabo bamuli bukiika nga baagala kuwamba bintu.

Tukyateesa - Sebaggala
Sudhir w’atwalidde edduuka lino, nga nnannyini lyo Ssebaggala ali bweru w’eggwanga, wabula mukulu we Alhaj Nasser Sebaggala yategeezezza nti waliwo kaweefube akolebwa okulinunula.

“ Tulina kye tukolawo, tetutudde butuuzi,” Sebbagala bwe yategeezza n’agamba nti Meddie Ssebaggala bamusuubira okudda mu ggwanga ekiseera kyonna.

Ensonda mu famire ya Ssebaggala zaategeezeza nti ateekateeka kutwala nsonga mu kkooti kubanga aba Crane Bank baamuyise emabega ne bagenda ku kkooti okufuna olukusa lw’okweddiza edduuka lye.

“Hajji amaze okuwa balooya be ebiragiro okuwaaba omusango mu kkooti y’ebyobusuubuzi okuweebwa omukisa okusasula ebbanja nga bizinensi ye tewambiddwa buwambibwa,” omu ku ba famire bwe yategeezezza.

Yagambye nti basuubira n’okwongera okuteesa n’aba Crane Bank okubawaayo ku budde basasule ebbanja nga tebawambye bya bugagga bye.

Ensibuko y’ebizibu bya Ssebaggala

Ssebaggala amaze emyaka egisukka mu 30 mu bizinensi y’ebyamasannyalaze gy’azze azimba mpolampola okutuuka lw’ekulaakulanye n’etuuka ku ntikko mu nsiike y’ebyamasannyalaze.

Mu myaka gya 90, Ssebaggala yafuna abasajja Abawarabu okuva e Dubai abaamussaamu obwesige ne bamuwa ku bbanja ebintu eby’omutindo era mu bungi n’atunda n’alyoka asasula.

“Ng’oluusi bwe bamuwa konteyina bbiri , asasulako emu , endala n’asasula ng’amaze okutunda, ekintu ekyamuyamba okuzimba bizinensi ye kubanga yalina ebintu mu bungi ate nga bya mutindo
gwa waggulu”, Ensonda bwe zaategeezezza.

Wabula ku ntandikwa ya 2000, ebintu byesibamu, Abawarabu ne batuuka n’okujja kuno nga babanja Ssebaggala ensimbi nnyingi era enkolagana yaabwe n’efa.

Ekyava mu kino ye Ssebaggala okuva ku Bawarabu n’atandika okusuubula eby’amasannyalaze okuva e China , ekintu ekyakosa by’atunda.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde Ssebaggala yafuna obuzibu ab’ekitongole ky’omutindo mu ggwanga (UNBS) bwe baazinda edduuka lye ne baaza ebintu eby’omutindo ogw’ekibogwe era kino kyatta nnyo akatale ke.

Ensonda zaategeezezza nti obuzibu obulala obutuusizza Ssebaggala ku kino bwavudde ku nsimbi ennyingi ze yassa mu kkolero lya payipu z’amasannyalaze wamu n’edduuka lye eddala eritunda amataala ebitannatambula nga bwe yali asuubidde.

Ekirala waaliwo ekiseera ng’abantu bava mu bifo ebyewala nga Masaka, Jinja ne Mbale okujja okugula ebyamasannyalaze eby’omutindo mu Ssebaggala And Sons naye kati mu bibuga bino byonna abasuubuzi abaamanyi naddala Abayindi bakozeeyo amaduuka agavuganya n’erya Ssebaggala.

 

Sudhir awambye edduuka lya Ssebaggala lwa bbanja

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sam2 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.