TOP

Black yeeyongeddeyo e Japan

By Musasi Wa

Added 26th January 2013

EMIKISA gya Bad Black okwetwala (okweyanjula) mu kkooti giri mu lusuubo.

2013 1largeimg226 jan 2013 154459880 703x422

Bya MARTIN NDIJJO NE ALICE NAMUTEBI

 

EMIKISA gya Bad Black okwetwala (okweyanjula) mu kkooti giri mu lusuubo.

Wiiki ewedde looya we, Henry Kisaalu yabadde amusuubira okukomawo mu ggwanga yeeyanjule mu kkooti okwewala poliisi okumukwata oluvannyuma lwa kkooti ejulirwamu okumuteekako ekibaluwa kibakuntumye, kyokka teyalabiseeko.

Bino we bijjidde nga waliwo ebigambibwa nti Black yeeyongeddeyo okuva e Dubai gye yagenda okumujjanjabira
amabeere kati ali mu Japan.

Ku mukutu gwe ogwa Face Book, ogulaga ekifo omuntu w’asinzidde ng’aliko obubaka bw’aweereza, mu kiseera kino gulaga nti ali mu kibuga Tokyo ekya Japan.

Wabula looya we, Kisaalu bwe yabuuziddwa yagambye nti tayinza kubikakasa kubanga abadde tannaddamu kwogera naye, kyokka amusuubira okudda mu ggwanga essaawa yonna.

Okwagala okunyumyamu ne mikwano gye n’okubategeeza ebimukwatako, Black ennaku zino ajjumbira okuteeka obubaka ku mukutu gwe ogwa Face Book era nga buno bwe bumu ku bubaka obubanyumira.

“ALL THE GOOD, ALL THE BAD I’LL KEEP THEM INSIDE MA HEART. ALL TIME WE A SHARELIN NOW DAVID EVERY PLACE, EVERY WHERE U TOUCHED MA HEART FOR BUYING ME A VERY NICE HOUSE AND CAR AGAIN DARLING THANK U SOOOOOOOO MUCH MY DEAR LOVELY HUSBAND. IAM IN LOVE WITH U LIKE 1DAYS WE MEET SWEAR.........” “NTUMILA ABAKYALA ABAKWANA OMUZUNGU WANGE NE MUKUBA ESIMU OKUFILAWO KYOKA NZE NUMBER EMU NEKWATA .KALE MBATUMIIDE!!”

Obulala bwe yawandiika bugenda bwe buti “morning banange masaka naye asobedde rain rain everyday i better come back to kampala.......”Ekituufu ku Black wano we kyongedde okutabulira abantu!

Black yeeyongeddeyo e Japan

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...