TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kkooti eyongezzaayo okuwulira omusango omupya ku Meddie

Kkooti eyongezzaayo okuwulira omusango omupya ku Meddie

By Musasi Wa

Added 6th February 2013

OKUWULIRA omusango omupya oguvunaanibwa mwanamulenzi Meddie Ssentongo, eyasingisibwa ne Bad Black emisango gy’okwekobaana n’okubba ssente z’Omuzungu David Greenhalgh kwongezeddwayo okutuusa nga February olwa fayiro y’omusango obutabawo mu kkooti.

2013 2largeimg206 feb 2013 181812933 703x422

Bya Martin Ndijjo

OKUWULIRA omusango omupya oguvunaanibwa mwanamulenzi Meddie Ssentongo, eyasingisibwa ne Bad Black emisango gy’okwekobaana n’okubba ssente z’Omuzungu David Greenhalgh kwongezeddwayo okutuusa nga February olwa fayiro y’omusango obutabawo mu kkooti.

Ssentongo ali mu kkomera e Luzira eggulo yazzeemu okulabikako mu kkooti ya Buganda Road ku musango omupya ogwamuggulwako, ogw’okutiisatiisa bbulooka wa kkooti, Christopher Kwezera Ssebikali ne pisito n’okwagala okumutuusaako obulabe.

Wabula okuwulira omusango guno okwabadde kusuubirwa okutandika eggulo, tekwagenze mu maaso oluvannyuma lw’omulamuzi aguli mu mitambo, Mary Eleanor Khainze obutabaawo ate nga ne fayiro y’omusango yabadde ekyali wa Ssabawaabi wa Gavumenti (DPP).

Omuwaabi wa Gavumenti mu musango guno yasoose kutegeeza nga fayiro y’omusango oguvunaanibwa Ssentongo bw'etaliiwo nga yatwaliddwa wa Ssabawaabi wa Gavumenti agitunulemu n’oluvannyuma ababUulire eky’okukola, era wano omulamuzi Araali Kagoro Muhirwa eyabaddewo ku lwa Khainze kwe kugwongerayo okutuusa nga February 20.

Sulaiman Ajungule munnamateeka wa Ssentongo eyabaddewo mu kkooti yategeezezza nga bbo bwe balindiridde ekinaava ewa DDP okusalawo ekiddako.

“Omuntu wange nkimanyi talina musango bino bagezAako kupanga naye ekirungi fayiro batugambye eri wa DPP kati tulindiridde ekiddako,” Ajungule bwe yategeezezza.

 

...............................................................................................................................................................

Ebirala ku Meddie Ssentongo.....

Ssentongo eyali muganzi wa Black awera kuddamu kumansa ssente.

Omuzungu aleese obujulizi obuluma Meddie ne Black

Black ne muganzi we Meddie Ssentongo gabamyuse.

Meddie yeegaanyi omwana wa Bad Black - Ssi wange.

Black ne Meddie basingisiddwa ogw'okwezibika ssente z'Omuzungu babatutte Luzira

......................................................................................................................




Okuwulira omusango omupya oguvunaanibwa Meddie kwongezeddwayo

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’