TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde ajingirira ebiwandiiko by’obusawo mukwate

Abadde ajingirira ebiwandiiko by’obusawo mukwate

By Musasi Wa

Added 7th February 2013

Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujingirira ebiwandiiko by’obuyigirize bw’abasawo n’abiguza abantu.

2013 2largeimg207 feb 2013 090249130 703x422

Bya Eva Naluwagga


Poliisi ekutte omusajja agambibwa okujingirira ebiwandiiko by’obuyigirize bw’abasawo n’abiguza abantu.

Jonathan Glenn Ekalu 32, ow’e Kyebando yakwatiddwa poliiisi y’e Wandegeya nga kigambibwa nti yajingirira ebiwandiiko by’obuyigirize by’obusawo n’abiguza Harriet Birungi ku 1,500,000/-.

Birungi agamba nti yali yasomera Kabaale kyokka ng’ettendekero teryakakasibwa kitongole kya byabulamu, Ekalu kwe kumuguza empapula eziraga nti yasomera mu ttendekero ly’abasawo e Jinja erya Jinja Medical Laboratory Training School n’amukolera ne satifikeeti.

Birungi yasoose kukwatibwa ekitongole ky’ebyobulamu n’alonkoma Ekalu.

Ekalu era yajingirira ebiwandiiko n’abiguza Justin Chesang eyali asomera ku Kyobe Laboratory Medical Training Centre nga kigambibwa nti Ekalu ye yali alikulira.

Chesang nga bwe litaakakasibwa kitongole kya byabulamu era n’amusaba 500,000/- amukolere ebbaluwa okuva mu ttendekero ly’abasawo e Jinja.

Okusinziira ku kunoonyereza poliisi kwe yakoze, ennamba eziri ku biwandiiko bya Birungi ne Chesang zaatuuliramu bayizi balala okuli Eva Kamaholo LA 312/2006 ne Hope Nalwoga LA422/2006 okuva mu ttendekero e Jinja.

Kigambibwa Ekalu okujingirira ebiwandiiko by’ettendekero ly’abasawo e Jinja yalinayo owooluganda lwe akolerayo bwe baakolagana.

Ekalu

Ekalu okukwatibwa poliisi y’e Wandegeya yabadde afuluma kkooti y’oku ttendekero lya LDC gy’awerennemba n’emisango gy’okujingirira ebiwandiiko.

Yagguddwako emisango ku fayiro CRB2360/2013 ne CRB182/2013.

Ajingirira ebiwandiiko by’obusawo mukwate

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’

Lwe11 220x290

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba...

Obugubi abasajja bwe bayitamu olw’okusiiba awaka

Lv1 220x290

Engeri gy’okozesa ekiseera kino...

Engeri gy’okozesa ekiseera kino okunyweza laavu yammwe