TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enjaga y''evuddeko ebimansulo okweyongera - UYDL

Enjaga y''evuddeko ebimansulo okweyongera - UYDL

By Musasi Wa

Added 5th March 2013

ABEKIBIINA ekirwanirira embeera z’abavubuka ekya ‘’Uganda Youth Development Link’’ bagenze mu palamenti ne bagisaba okuzuukusa ebbago ly’etteeka erirwanyisa okunywa enjaga nga bagamba nti okugifuweta gwe guvuddeko emize emirala ng’okutemula abantu n’okuzina ebimansulo okweyongera.

2013 3largeimg205 mar 2013 165126757 703x422

Bya Muwanga Kakooza

ABEKIBIINA ekirwanirira embeera z’abavubuka ekya ‘’Uganda Youth Development Link’’ bagenze mu palamenti ne bagisaba okuzuukusa ebbago ly’etteeka erirwanyisa okunywa enjaga nga bagamba nti okugifuuweeta kye kiviiriddeko emize emirala ng’okutemula abantu n’okuzina ebimansulo okweyongera.

Ab’ekibiina kino abaakulembeddwamu akikulira, Rogers Kasirye era baasabye abaana abato abakwatibwa mu bikolwa by’okunywa enjaga n’okukozesa ebiragalalagala baleme kutwalibwanga mu makomera wabula basindikibwenga mu bifo we basobola okubuulirirwa okuleka omuze guno.

Bino ab’ekibiina kino baabitegeezezza akakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda n’ensonga z’omunda akaakubiriziddwa Milton Muwuma.

Baagambye nti Gavumenti yaleeta ebbago ly’etteeka ly’okulwanyisa okunywa enjaga n’okukozesa ebiragalalagala erya ‘’The Narcotics and Psychotropisc (Control) bill,2007’’ kyokka kati limazeeyo emyaka mukaaga teri kikolebwa.

Baasabye ababaka basitukiremu okulaba ng’etteeka lino lidda mu ddiiro kiyambe okulwanyisa emize egyekuusa ku kunywa enjaga.

Kasirye yagambye nti kati okukozesa ebiragalalagala kweyongedde okutabuka kuba tekukyali mu baana ba famire z’abanaku bokka wabula n'ez’abaggagga abanywa enjaga ennongoseemu eya ‘cocain’ n’endala.

Baagambye nti omuze gutuuse ne mu masomero era gwetaaga kulwanyisa nnyo eggwanga lireme kwongera okwonooneka.

Ssentebe w’akakiiko kano Milton Muwuma yasuubizza okukola ekyetaaga okulaba ng’ebbago lino liddamu okuteeseebwako.


Enjaga y''evuddeko ebimansulo okweyongera - UYDL

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab2 220x290

Leero mu mumboozi y'omukenkufu...

Leero mu mumboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okukozesaamu butto w'empirinvuma okulwanyisa obulumi ng'oli...

Kuba1 220x290

Abalamuzi mu nsi za Afrika 5 basisinkanye...

HENRY Peter Adonyo akulira ettendekero ly’abalamuzi akubirizza abalamuzi ba Kkooti Enkulu okwenyigiranga mu misomo...

Haki 220x290

Kamoga atongozza hakki eyookuna...

HAJJI Muhammadi Kamoga naye nno tasaaga. Ayingizzaawo hakki eyookuna Zanei Birungi.

Tuula 220x290

Spider Roxy atandise okukokoolima?...

ABANTU abaalabye omuyimbi Spider Roxy n’ekyana nga beekuba obuwuna n’obwama baasigadde beebuuza oba naye yatandise...

Tuma 220x290

Omuwala yankyawa lwa bwavu

NZE Wilson Musoga, nzaalibwa mu disitulikiti y’e Mayuge. Mu 2018, nnasalawo okufuna omwagalwa era amaaso gansuula...