TOP

Eklezia eyimirizza Anthony Musaala ku bwa Faaza

By Musasi Wa

Added 19th March 2013

EKLEZIA Katolika eyimirizza Faaza Anthony Musaala oluvannyuma lw’okuwandiika ebbaluwa ng’asaba bafaaza n’Abasiisita bakkirizibwe okuwasa n’okufumbirwa.

2013 3largeimg219 mar 2013 201518120 703x422


 

 Bya Musasi Waffe

EKLEZIA Katolika eyimirizza Faaza Anthony Musaala oluvannyuma lw’okuwandiika ebbaluwa ng’asaba bafaaza n’Abasiisita bakkirizibwe okuwasa n’okufumbirwa.

Mu kiwandiiko Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala, Dr. Cyprian Kizito Lwanga kyafulumizza olweggulo lwa leero (Olw’okubiri) ategeezezza nti etteeka lya Klezia 277 likirambika bulungi nti Abasosodooti n’Ababiikira baakulekanga ebikolwa by’ekifumbo ebbanga lyonna ery’obulamu bwabwe kubanga kino kirabo kya Mwoyo okuva eri Katonda ekibawa enkizo okusaasaanya obuweereza bwa Kristu n’omutima gwabwe gwonna n’amaanyi g’omubiri gwabwe gonna nga bwe kiragibwa mu Matayo 19:12, wamu ne 1 Bakorinso 7:7, 17, 32-35.

Yanokoddeyo n’etteeka 1037 eriragira obutayingiza muntu yenna mu Bufaaza oba Obusiisita okuggyako ng’akkirizza nti waakweresa ebikolwa byonna eby’ekifumbo ebbanga lyonna ery’obulamu bwe ng’ali mu buweereza era ekiragaano kino n’akikuba mu maaso ga Katonda ne mu maaso ga Klezia mu lujjudde.

Faaza Anthony Musaala

Lwanga mu kiwandiiko yategeezezza nti Omusosodooti n’Omubiikira yenna alemwa okugoberera kino abeera akikoze ku lulwe ng’omuntu so si ku lwa Klezia.

Yennyamidde olw’ebbaluwa Fr. Anthony Musaala gye yawandiise n’eteekebwa ne ku mikutu gya yintaneti ng’asaba Bafaaza n’Abasiisita bakkirizibwe okuwasa era n’anokolayo ne Bafaaza ba mirundi ena (b’ataayatudde mannya) abagambibwa okuzaala abaana mu nkukutu.

Yayimirizza Faaza Musaala obutaddamu kuyimba mmisa n’okugaba Amasakaramentu olw’obutassa kitiibwa mu nnono za Klezia n’okwonoona ekitiibwa n’enneeyisa yaayo nga bwe kirambikibwa mu kibonerezo ekiyitibwa “Ferendae sententiae” ekiri mu tteeka lya Klezia 1314; nga n’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Kyokka Lwanga yagambye nti tebagenda kukoma ku kunoonyereza ku nsonga za Fr. Musaala zokka wabula baakunoonyereza ne ku Basosodooti be yayogeddeko mu kiwandiiko kye, abagambibwa okuzaala abaana mu nkukutu.

Ekelezia Faaza Anthony Musaala ku bwa Faaza

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi