TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyimbi Angume obulwadde bumweyongedde, takyayogera

Omuyimbi Angume obulwadde bumweyongedde, takyayogera

By Musasi Wa

Added 17th April 2013

ABASAWO mu ddwaaliro ekkulu e Mulago bannyonyodde obulwadde obuluma Martin Angume obumutuusizza n’okuba nga takyavaamu ddoboozi.

2013 4largeimg217 apr 2013 085013983 703x422



Bya JOSEPHAT SSEGUYA

ABASAWO mu ddwaaliro ekkulu e Mulago bannyonyodde obulwadde obuluma Martin Angume obumutuusizza n’okuba nga takyavaamu ddoboozi.

Angume, ajjanjabirwa mu waadi ya 6B takyasobola kwogera, ekitanda yakivuddeko n’adda ku ttaka, azimbye olubuto n’ebintu ebirala.

Abasawo baategeezezza nti Angume alina obulwadde bwa mirundi mukaaga. Muno mulimu ensigo, ekibumba, olubuto oluzimbye ne kasikonda ebivuddeko n’amaaso ge okufuuka aga kyenvu ennyo ne yeeyongera okugonda.

Abasawo, baategeezezza Bukedde nti bakyanoonyereza ku kibumba kye kubanga obubonero bulaga nti kirwadde, kyokka tebanamanya nnyo kituufu na kiki kwe kiva.

Baategeezezza nti ebimu ku bitera okulwaza ekibumba gwe mwenge ogususse wabula ne bagamba nti mukyalawe Julie Ssemugga yabategeezezza nga Angume bw’atagunywa ekyabaleetedde okwongera okutakula emitwe.

Julie, agamba nti waliwo abasawo abaamutegeezezza nti ekisinga okuvaako obulwadde buno bwonna z’ensigo okulwala. Abasawo baagambye nti kasikonda baamujanjabye wabula bwe yakendedde ate omulwadde yaweddemu nnyo amaanyi olw’eddagala ery’amaanyi kyokka Ssemugga agamba nti kasikonda agira akaseera n’akomawo naddala ekiro.

Baasazeewo okukendeeza ku bungi bw’eddagala lye bamuwa nga bagamba nti lirabika lisusse obungi ne limugonza.

Abadde amira empeke okuli n’empiso bbiri olunaku n’eddagala ly’amazzi ery’amaanyi ennyo okusinziira ku Julie. Abasawo lye baasoose okuwummuzaamu nga bwe balinda lipoota ku kibumba kye, balyoke balabe eddala lye bamuzzaako.

Gye buvuddeko Angume abadde assiza ku byuma.

Omuyimbi Angume obulwadde bumweyongedde, takyayogera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Samhouse7 220x290

Sam Mukasa ayingidde goloofa ye...

Yiino goloofa ya Sam Mukasa eyogeza banne obwama!

8714805438505141082996706452061019224145920o 220x290

Museveni ne Kagame basisinkanye...

Kyaddaaki Pulezidenti Museveni ne mukulu munne owa Rwanda, Paul Kagame beefumbye akafubo ku nsalo ya Uganda ne...

Kasa 220x290

Maama kalimunda tonyiga bbebi ennyindo...

ONO maama kalimunda tatya kunyiga bbebi nnyindo olw’engeri gy’akulukuunya olubuto lwe ku musajja.

Omukyalangaatudde 220x290

Laba byana biwala ebyanywa amata...

Bw’oba otambula, osanga ebyana ebitambulira mu bibinja nga byesaze obugoye obukulengeza ‘waaka’ nga ‘n’ebithambi’...

Firimu 220x290

Eyali asoma obwafaaza alumbye Mbarara...

FERDINAND Lugobe Pike eyabulako akatono okufuuka omusosodooti ayingidde ekisaawe ky’okuzannya Ffirimu.