TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enjaga gye baakutte ne Iryn eyongera maanyi ga kisajja: Alaajanye ku mbeera y’ekkomera

Enjaga gye baakutte ne Iryn eyongera maanyi ga kisajja: Alaajanye ku mbeera y’ekkomera

By Musasi Wa

Added 15th May 2013

OMUYIMBI Iryn Namubiru asinzidde mu kkomera e Japan gye baamusibira n’alaga embeera embi gy’alimu ng’engoye z’akyusa zimuweddeko, mweraliikirivu nga n’emmere y’ekijapani yamulema okulya ekimuleetedde okuggwaamu amaanyi.

2013 5largeimg215 may 2013 205645293 703x422



Bya MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA 

OMUYIMBI Iryn Namubiru asinzidde mu kkomera e Japan gye baamusibira n’alaga embeera embi gy’alimu ng’engoye z’akyusa zimuweddeko, mweraliikirivu nga n’emmere y’ekijapani yamulema okulya ekimuleetedde okuggwaamu amaanyi.

Bino yabitegeezezza looya Omujapani Yuko Matsumoto eyamuweereddwa gavumenti ya Japan okumuwolereza nga yamusanze mu kkomera ly’e Chiba gy’akuumirwa kati.

Matsumoto  ebyamugambiddwa Iryn yabazeemu ekiwandiiko n’akiweereza Balaam Barugahare era ebintu byonna yabimunyumirizza ng’akaaba.

Iryn yagambye nti olw’okuba yali agenze kuyimba mu kivvulu akomewo teyatwala ngoye nnyingi era nga kati zimuweddeko. Ensonda zaategeezezza nti Bannayuganda abasinga e Japan batya okwesaza ku kaduukulu k’e Chiba olw’obutaba na biwandiiko era nga wakyabuzeeyo n’amutwalira engoye.

LOOYA YASABYE OBUKADDE 50

Looya Matsumoto yasabye doola 20,000 (mu za Uganda obukadde 50)  okuwoza omusango gwa Iryn kyokka nti Iryn yeegayiridde ne bamusalira ku ssente zino ne bazizza ku doola 10,000 (eza Uganda obukadde 25) kyokka n’asaba bazibaweereze mangu kuba balina emirimu mingi. 

Omu ku bapulomoota ba Iryn, Capt. John  Kassami nnannyini Waterfront Beach e Ntebe era nnannyini Fusion Band, Iryn mw’ayimbira kigambibwa nti ku ssente zino yasuubizzaako doola 5,000. Akulira ekibiina ekigatta abayimbi ne bannakatemba, Andrew Benon Kibuuka yategeezezza nti bawandiikidde minisitule y’ekikula ky’abantu etwala abayimbi ebategeeze we batuuse nabo batandikire awo.

...................................................................................................................................

 

Ebirala ku Namubiru....

.....................................................................................................................................

 

EKIKA KY’ENJAGA EYASANGIDDWA NE IRYN

Dayirekita wa poliisi y’ensi yonna mu Uganda, Asan Kasingye yagambye nti okusinziira ku poliisi y’e Japan, Iryn yasangiddwa n’enjaga eyitibwa MDMA oba ‘3-4 methylenedioxy-methamphetamine’ mu bujjuvu. Okunoonyereza kwaffe kulaze nti ebiragala bino bitundibwa nga ‘Ecstasy’ era nga lisinga kumiribwa mu bukerenda. 

Kyokka abakugu balabula nti oli bw’ayitiriza okubikozesa bisobola okumwabya omutima n’afa. Likozesebwa nnyo abagagga n’abavubuka abalina ku ssente abaagala okulaga abaagwalwa baabwe nti ba mutawaana nnyo mu nsonga z’omu buliri.

Yannyonnyodde nti ekika kino ky’ekimu ku ebyo ebisinga ebbeeyi mu nsi yonna era kyettanirwa nnyo abadigize kubanga kibacamula omubiri ne kibawa n’amaanyi naddala nga bagenda okusinda omukwano kubanga kyongera emisinde omutima kwe gukubira n’okupika omusaayi mu bitundu by’omubiri eby’enjawulo. 

Kasingye yabadde asisinkanye maneja wa Iryn Thadeus Mubiru, Balaam ne Kibuuka eggulo ku kitebe kya poliisi y’ensi yonna e Kololo gye baasibye n’abagamba nti buli kikwata ku Iryn bakiweereza butereevu ewa Lt. Gen. Kale Kayihura.

Agamba nti baagala Kayihura alabe ebintu bwe biri kubanga ensonga y’enjaga ekwata ku ggwanga lyonna kuba n’abatujju bafuna ssente nnyingi mu njaga era kati banoonya ekibondo ky’enjaga kyonna mu Uganda bakisaanyeewo. 

OLUGANDA NE MANEJA WE

Omuwala eyeeyise Yvet Sseguya Irene agamba nti muganda wa Iryn yasinzidde ku mukutu gwa Facebook n’avumirira Thadeus Mubiru gw’agamba nti yalemwa emirimu gye omuli n’obutakebera kitereke kyamuweebwa. Iryn naye yagambye looya we Omujapani nti Mubiru baakula naye abantu ne batuuka n’okulowooza nti mwannyina bwe bagatta taata ne maama kyokka nga kino si kituufu.

Enjaga gye baakutte ne Iryn eyongera maanyi ga kisajja: Alaajanye ku mbeera y’ekkomera

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...