TOP

Okufuuka omuzira kya layisi mu Uganda

By Josephat Sseguya

Added 31st May 2013

BANNAYUGANDA bakusesa, waliwo abantu abakola ebintu amakula kyokka ne basalawo kubasiima nga bafudde. Ate waliwo abasiimibwa ne bakola n’amannya mu kaseera mpawekaaga ng’ate bye bakola bikontana n’amateeka.

2013 5largeimg231 may 2013 085053777 703x422

Bya MARTIN NDIJJO NE JOSEPHAT SSEGUYA

BANNAYUGANDA bakusesa, waliwo abantu abakola ebintu amakula kyokka ne basalawo kubasiima nga bafudde.

Ate waliwo abasiimibwa ne bakola n’amannya mu kaseera mpawekaaga ng’ate bye bakola bikontana n’amateeka.

Bwe baba babadde bweru wa ggwanga, abantu babaaniriza nga bazira.
Leero tukuleetedde abamu ku bantu bano abakoze amannya mu bintu ebitategeerekeka n’oluusi ebimenya amateeka.

MARY NALULE

Omukadde ono mutuuze w’e Mityana. Omwaka oguwedde yawuniikirizza eggwanga bwe yeesowolayo n’alangirira ng’ayita ku polugulaamu y’Abanoonya ku Bukedde Tv nti anoonya omusajja Omuzungu gwe yayita ‘Siriva ppuwa’.

Kino kye yakola kyamufuula omuganzi mu bantu n’abamu ne batandika n’okumuyita sereebu nga beewuunya jjajja w’abaana ky’anoonya ku nsi. Mu kiseera kino Nalule takyawulikika era nga tekimanyiddwa oba omusajja gwe yali anoonya yamufuna.

AL HAJJI NTEGE NASSER SEBAGGALA

Mu 1998, yavuganya ku Bwameeya bwa Kampala n’awangula.

Bwe yakyalako mu Amerika mu 1999 baamuyoola n’atwalibwa mu kkooti lwa kusaasaanya bicupuli bya doola.

SSEBAGGALA

Omusango gw’amusinga n’asibwa n’asalawo okuddayo mbu asome.

Bwe baamuyimbula, yayingira mu byafaayo olw’abantu abangi abaagenda ku kisaawe e Ntebe okumwaniriza n’okumulindirira ku kkubo nga bwe beekubagiza nti, ‘kasita yabba Bazungu’.

Erinnya lye lyeyongera okuvuga era bwe yaddamu okuvuganya ku Bwameeya akalulu yakawangulira waggulu newankubadde empapula ze zaali teziwera.

 

Abawagizi ba Iryn nga bamwaniriza ku kisaawe e Ntebe.

IRYN NAMUBIRU
Ono y’omu ku bayimbi abanene mu ggwanga era yagambye nti tasobola kweteekako kya kukusa njaga kubanga yeekolera dda erinnya.

Abawagizi be bwe baawulidde nti poliisi emuyimbudde ne beeyiwa ku kisaawe e Ntebe ne ku makubo okumwaniriza ng’omuzira ekintu abamu kye balowooza nti kimwongedde amaanyi era ennyimba kati zikubibwa kumpi ku buli mukutu gwa leediyo ne ttivvi.

Mu kkomera ly’e Chiba mu Japan, amazeeyo wiiki ssatu ku bigambibwa nti yali akukusa enjaga. Obwedda bw’atuuka mu bitundu ebirimu abantu abangi nga Kajjansi, Namasuba n’e Katwe ng’avaayo ng’abawuubirako.

 

 

GAETANO

GAETANO JJUUKO KAGGWA
Ono y’omu ku baasooka okuyingira mu nnyumba ya Big Brother mu 2003. Yakola bulungi olw’engeri buli kiseera gye yayogeranga ku Uganda. Bwe yakwatagana ne Abby Pladjes ezaalwa y’e South Afrika ne gubula asala.

Bwe baasindira omukwano mu nnyumba eno ng’abantu babalaba erinnya lye ne lyeyongera okuvuga! Bwe yali akomawo, abantu beeyiwa ku kisaawe e Ntebe n’abamu ne bakwatirira ku luguudo okumwaniriza ekyalaga nti bawagira nnyo abakola ebikyamu.

Wadde ng’erinnya lye terikyavuga, y’omu ku baafunamu bwe bamuwa emirimu mu nsi z’ebweru kubanga tewaali amumanyi.Abawagizi ba Walukagga nga bamusitudde lwe yaggyibwako omusango ogwali gumuvunaanibwa
Samona.

MATHIAS WALUKAGGA ASIBWA
Bwe yakuba oluyimba lwa ‘Tuleppuke’ abantu ne bagamba nti yali alumba omu ku bagagga abakola ebizigo. Omugagga kyamuyisa bubi n’amuggulako omusango era gye byaggweera nga bamusibye e Luzira mu 2009.

Oluvannyuma yayimbulwa mu kkooti e Makindye ekintu ekyasaanuula abawagizi be ne bakung’aana ne bayisa ebivvulu mu Makindye okutuuka e Busaabala ku bbiici ya Bobi Wine.

Poliisi yalwana n’abantu abaali bacankalanye nga bakola effujjo. Wadde nga baategeeragana n’omugagga ono, okuva olwo erinnya lye lyeyongerako okuvuga.

 

Dr. Watuwa nga yeewaamu.

DR. WILLIAM WATUWA
Ono mugagga ate musawo mutendeke era emirimu gye agikolera mu Norway ate kuno abeera Makindye.

Omwaka oguwedde ggaayi ono yeekolera erinnya bwe yalangirira mu mpapula z’amawulire nga bwe yali anoonya omukazi okumumalako ennyonta y’omukwano.

Oluvannyuma lw’amawulire gano okufuluma, kigambibwa nti abakazi bangi baagezako okumutuukirira n’abakozesa ‘yintaviyu’ kyokka nti n’abulwamu atuukana n’amaanyi ge. Okuva olwo Watuwa yafuuka sereebu akyayogerwako naddala mu nsonga z’omukwano.

 

 

Bad Black ng’abuuza ku bantu lwe baamuyimbula mu kkomera.

BAD BLACK
Amannya ge amatuufu ye Shanita Namuyimba. Abadde yeegulidde erinnya olw’okuyiwaayiiwa ssente, okukyusa abasajja n’okuvuga mmotoka ez’ebbeeyi.

Bad Black yawuddiisa muganzi we Omuzungu David Greenhalgh n’amuyiira obuwumbi 11 be ddu n’alyoka acakala n’ayitawo. Okutuusa nga David Greenhalgh amaze okumutwala mu kkooti, tewali yali akimanyi nti ssente ze yali amansamansa tezaali zize.

Yatandika okumanyika mu 2010 olw’emmotoka ez’ebbeeyi omuli BMW, Mercedes Benz, Range Rover Sport n’endala ze yakyusanga n’okusuula mu biduula ng’atiguka n’ekibinja ky’abawala be yateekangamu kaasi.

Nga akyawozesebwa mu kkooti ekola ku misango gy’abakenuzi e Kololo, mu November wa 2011, bwe yayimbulwa abawagizi be bamwaniriza nga muzira nga bamukulisa ekkomera.
Omuzungu bwe yamuvaamu n’aggwaamu era embeera bwe yeeyongera okumwonoonekera yadduka ne mu ggwanga.

MAUREEN NAMATOVU
Ono naye yaliko mu Big Brother mu 2007. Abantu bwe baamulaba nga mujjagujjagu baalowooza nti anaakola nga Gaetano.

Alina omuvubuka eyamuganza kyokka tebaagenda wala wabula n’akola bulungi era y’omu ku baasembayo okuvaayo. Abantu baamwagala era naye yagezaako okwanirizibwa abantu bangi ku kisaawe e Ntebe. Ennaku zino erinnya lye lyakendeera.Chance Nalubega

CHANCE NALUBEGA NE EAGLES
Mu 2003, Chance Nalubega n’abayimbi ba Eagles Production, Ronald Mayinja, Mesach Ssemakula, Geofrey Lutaaya baabakwatira e Nairobi nga bagezaako okugenda e Bungereza polomoota waabwe bwe yabawa Viza ez’ebicupuli.

Baabakwata ne bazzibwa ku butaka olwo Nalubega n’akuba n’oluyimba ‘Babicupuli Group’ olwamutunda ennyo. Abantu be yali ayimbako omuli Mesach, Lutaaya ne Mayinja baali babamanyi ekintu ne kikwatayo ate nabo ne beeyongera amaanyi era emyaka egyaddako Eagles yakolera ddala bulungi.

CHAMELEONE
Ono wadde yali alina erinnya, mu 2005 yalwana ne Bobi Wine bwe baali mu Angenior ne bakubagana bubi nnyo ne balumya n’abataali mu lutalo lwabwe.

Poliisi yayigga Chameleone nga Bobi agamba nti ye yatandika olutalo. Yaddukira mu Amerika gye yamala emyezi ebiri kyokka bwe yakomawo abantu baamwaniriza ku kisaawe e Ntebe ne bamuwerekera okutuuka ku CPS mu Kampala.

HAJJI SUUDI NSEREKO
Musuubuzi w’e Mbarara. Wadde yali amanyikiddwa gy’abeera, abantu beeyongera okumumanya mu 2008 ng’akomyewo okuva e Mecca gye baamukwatira mu December wa 2007.

Yamalayo emyezi etaano ng’abuulirizibwako ku bigambibwa nti yasangibwa n’akasawo k’omutu omulala akaalimu ssente mu bukyamu ku ntikko y’emikolo gya Hijja.

Eby’okubba yabiwakanya n’ategeeza nga bwe yali akalonze kyokka n’alwawo okukaddiza nnannyini ko. Oluvannyuma ab’obuyinza baakizuula nti teyalina kigendererwa kya kubba ne bamuyimbula era e Mbarara baamwaniriza nga muzira n’erinnya ne lyeyongera okuvuga.

 

Okufuuka omuzira kya omuzira mu Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo