TOP

Abakazi baloopye ba bbaabwe ku by’emmere

By Musasi Wa

Added 15th January 2014

ABAKAZI ku byalo okuli Iguluibi ne Musita B mu ggombolola y’e Wairasa mu disitulikiti y’e Mayuge balaajanidde omubaka waabwe, Vincent Bagiire (Bunya west) abataase ku baami baabwe ababalemesezza okulima emmere ekivuddeko enjala okubazinda.

2014 1largeimg215 jan 2014 091748950 703x422



Bya JACKIE NAMBOGGA
ABAKAZI ku byalo okuli Iguluibi ne Musita B mu ggombolola y’e Wairasa mu disitulikiti y’e Mayuge balaajanidde omubaka waabwe, Vincent Bagiire (Bunya west) abataase ku baami baabwe ababalemesezza okulima emmere ekivuddeko enjala okubazinda.

Baategeezezza nti yadde balina ettaka erimala, tebakyasobola kulirimirako olw’abasajja baabwe okulirimirako ebikajjo ate abalala ne balipangisa eri ababirima.

Bino baabitegeezezza Bagiire mu nkiiko ez’enjawulo ze yatuuzizza ku kkanisa y’e Iguluibi ne ku kyalo Musita B ku Ssande mu kaweefube gw’aliko okutumbula obungi bw’emmere mu maka ng’agenda agabira abakyala enkumbi.

Abakyala baategeezezza Bagiire nti kaweefube we mulungi naye ayinza okugwa obutaka singa tatuuza nkiiko z’abaami baabwe ababuulire ku buzibu ekitundu bwe kyolekedde nga kyettanidde kulima bikajjo byokka.

Omu ku batuuze, Edith Nakaziba yategeezezza nti balina yiika z’ettaka 4 naye bba yamuwaako yiika emu kw’alimira ne muggyawe kyokka nga bombi balina abaana.

Abakazi baloopye ba bbaabwe ku by’emmere

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Twala 220x290

Engeri omusuubuzi w’ewa Kisekka...

ABAZIGU abeebijambiya balondodde omusuubuzi ow’amaanyi ne bamutemula. Bamuttidde ku ggeeti y’amaka ge nga yeggulira...

Ki 220x290

Ebya Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

EBY’OKUTEMULWA kwa Muhammad Kirumira Poliisi ebiyingizzaamu Bukedde bw’eyise abasasi baayo basatu okukola Sitatimenti...

Ggwanika1 220x290

Ab'eddwaaliro ly'e Kamuli batubidde...

Poliisi y’e Kamuli n’abakulira eddwaliro ly’e Kamuli batubidde n’omulambo ogw’omukazi eyabadde olubuto olukulu...

Eddwalirolyebutengahealthcentreiv 220x290

Eddwaaliro ly'e Bukomansimbi lisaliddwaako...

Abatuuze b'e Bukomansimbi bali mu katuubagiro olw'eddwaliro erisinga obunene mu disitulikiti eno okusalibwako amasannyalaze...

Omuyimbi Branic bamukutte mu liiso...

EKUBA omunaku tekya naye eri ku muyimbi Branic Benzie, baasula nabo be bamutegeera.