TOP

sdfbg

By Musasi Wa

Added 20th January 2014

sfbgfsb

ABA bodaboda balaajanidde
omuduumizi wa
Poliisi, Gen. Edward Kale Kayihura,
abayambe ku bapoliisi b’omu Kakungulu
zooni e Kawempe be balumiriza
okubanyaga mu matumbi budde.
Bino baabitumye Charles Nsaba
akulira poliisi y’oku Kaleerwe mu
lukiiko olwatuuziddwa mu Kibe
zooni ku Lwokuna ne balumiriza
ng’olumu abapoliisi bwe balagira aba
bodaboda babasindikire ssente ku
ssimu (mobile money). Aba bodaboda
nga bakulembeddwa ssentebe
wa siteegi y’omu Kibe ku Northern
Bypass, Fred Ssegirinya ne James
Kato baategeezezza nti abaserikale
b’oku poliisi ya Kakungulu buli kiro
baba ku mugano gw’okukwata aba
bodaboda ne babasiba nga bagamba
nti babbi nti tebalina kukola kiro
ng’okuva ku poliisi babaggyako
ssente okutandikira ku 100,000/-.
Nsaba yasuubizza okubayamba
wabula n’abalabula okukomya okutwalira
amateeka mu ngalo n’alagira
beewandiise kisobozese aboobuyinza
okuggyamu abakyamu.

sdfbg

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.