TOP

Bamukutte abbye omwana

By Musasi Wa

Added 25th January 2014

POLIISI mu disitulikiti y’e Kyankwanzi ekutte n’eggalira omuwala agambibwa okubba omwana wa mukwano gwe.

2014 1largeimg225 jan 2014 093615910 703x422Bya MARY NAKIBAKE

POLIISI mu disitulikiti y’e Kyankwanzi ekutte n’eggalira omuwala agambibwa okubba omwana wa mukwano gwe.

Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu disitulikiti eno, John Erick Wabwire yategeezezza nti omukazi ono yasoose kweyita Annet Namukose kyokka oluvannyuma n’abagamba nti ye Beatrice Nagudi, 25, ow’oku kyalo Lwebisiriza mu Town Council y’e Butemba.

Omwana eyabadde abbiddwa wa Slyvia Kengozi, 25 ow’oku kyalo Kabagaya B mu ggombolola y’e Butemba eyategeezezza nti Nagudi yamukedde ku makya n’amutegeeza nga bwazze okulaba ku mwana kuba ye yamuwerekera ne mu ddwaaliro okuzaala.

Yamumusabye asitulemu agendeko ku saluuni atwaleyo essimu n’amugaanira ye kwe kumuggya ku buliri n’amubikka leesu n’afuluma naye era yagenze okumunoonya nga talabikako.

Yaloopye ku poliisi eyamukwatidde e Ntwentwe n’emuggalira. Wabwire yategeezezza nti waakuvunaanibwa.

Bamukutte abbye omwana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ket1 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi z'omukenkufu tukulaze butto wa ovakkeddo gy'ayinza okutasaamu asiriiza entamu ssaako okufuukuuka...

Gwa 220x290

Anoonya omuvubuka ali siriyaasi...

OMWAKA nga gutandika abaana abawala bangi basazeewo okukkakkana era bangi bayigga bavubuka batuufu. Ku bawala 10...

Noonya 220x290

Nnoonya omwami ananjagala n’omwana...

Njagala omwami alina empisa, eyazimba nga mwetegefu okunfunira omulimu n’okugenda ewaffe n’okunjagala n’omwana...

Teba 220x290

Esther weebale kumponya laavu y’abayaaye...

NZE Henry Ssekabo, 26 nkola gwa busuubuzi nga mbeera Kawempe mu muluka gwa Bwaise II, Tebuyoleka Zooni.

Spice 220x290

Maneja Roger ye yamponya okudda...

NG’EBULA ennaku mbale okutuuka ku konsati ya Spice Diana etuumiddwa ‘Spice Diana live concert’ egenda okubeera...