TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ow'emyaka 14 bamusobezzaako ne bamutta ng’ava okulaba ttivi

Ow'emyaka 14 bamusobezzaako ne bamutta ng’ava okulaba ttivi

By Musasi Wa

Added 12th October 2014

ABAZIGU bateeze omuwala ow’emyaka 14 ng’ava okulaba akazanyo akabeera ku ttivi ewa muliraanwa ekiro ku ssaawa ssatu n’ekitundu ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta.

Bya PATRICK TUMWESIGYE

ABAZIGU bateeze omuwala ow’emyaka 14 ng’ava okulaba akazanyo akabeera ku ttivi ewa muliraanwa ekiro ku ssaawa ssatu n’ekitundu ne bamusobyako oluvannyuma ne bamutta.

Ruth Nabulya ow’oku kyalo Birongo mu ggombolola ya Makindye Saabagabo okumpi n’e Kajjansi ye yattiddwa mu ntiisa.

Nabulya abadde atera okuva ewa nnyina omuto Madrine Besigwa gw’abadde abeera naye nga talina ttivi n’agenda ewa muliraanwa ku kyalo buli kawungeezi okulaba akazannyo ku ttivi n’akomawo ku ssaawa ssatu n’ekitundu wabula ku luno bwe yagenze teyakomyewo, okusinziira ku nnyina ono.

Agamba baakanze kumulinda nga takomawo ne basalawo okwebaka kyokka kyababuuseeko okukeera ku makya ne babategeeza nga bwe waliwo omuntu eyabadde attiddwa era bagenze okutuukayo nga muwalawe.

Akola nga ssentebe w’ekyalo kino Njawusi Masawuli yategeezezza nti Nabulya okuttibwa awezezza omuwendo gw’abakazi basatu abattiddwa mu wiiki emu. Eyasooka yali Harriet Nakyanzi abatemu gwe baasobyako ne bamutta nga October 1 newaddako omukazi omulala ataategeerekeka mannya kuba teyali wa mu kitundu”.

Poliisi y’e Kajjansi ereese embwa enkonzi y’olusu gye batadde awali omulambo gwa Nabulya olwo n’ekulemberemu aba poliisi okutuusa lw’eremedde ku mulyango gw’enyumba emu ku kyalo ky’ekimu omwabadde Wasswa Ainomujuni ng’ono yakwatiddwa. 

Aduumira poliisi y’e Kajjansi, Hannington Busheijja akakasizza okukwatibwa kwa Ainomugisha ayambe mu kunoonyereza okukakasa oba nga ddala balina kye bamanyi ku kufa kwa Nabulya.

 

Basse ow’emyaka 14 ng’ava okulaba ttivi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo