TOP

Ebya S.4 bitandika nkya

By Musasi Wa

Added 12th October 2014

ENKYA ku Mmande abayizi ba S.4 lwe bagenda okutandika ebibuuzo byabwe, nga baakutuulira mu bifo 3,006 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Bya Margaret Ziribaggwa

ENKYA ku Mmande abayizi ba S.4  lwe bagenda okutandika ebibuuzo byabwe, nga baakutuulira mu bifo 3,006 mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Abayizi abagenda okutuula   ebibuuzo bali  309,899, ng’ebibuuzo bagenda kubitandika enkya nga October 13 babimalirize nga November 18 omwaka guno.

Abagenda okutuula ebibuuzo baamaze dda okubayitiramu ku mateeka wamu n’enkola gye bagenda okugoberera  nga bakola ebibuuzo byabwe.

Bano be bayizi abaakola PLE mu 2010 era abayizi abatuula ebibuuzo bya PLE mu mwaka ogwo baali 512,057 ekitegeeza nti abayizi 202,158 tebaatuuse mu S4! Bangi ku bayizi abamala P.7 tebatuuka mu S4 olw’obutaba na ssente zibongerayo n’abalala naddala abawala bafuna embuto nga bakyali ne batamalaako.

Abaayitira mu ddaala erisooka, eryokubiri n’eryokusatu baali 431,706, abaagwira ddala ne batasobola kuyingira siniya baali 58,668.

Abayizi 1,227 ebibuuzo byabwe tebyakomawo nga babateebereza okubba, okukopa n’emize emirala. Abaserikale abagenda okukuuma ebigezo bino 8,000.

 

Ebya S.4 bitandika nkya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pp 220x290

Abayimbi Bannayuganda battunse...

Abajamaica;Christopher Martin ne D-Major bakubye Bannayuganda emiziki egibaccamudde

Hse1 220x290

By’olina okumanya ng’ogula ennyumba...

Kya makulu omuntu akuguza ennyumba okukuwa ppulaani yaayo n’ogiwa omukugu nagyetegereza okukakasa nti ebiriko byagobererwa...

Ssenyonjo 220x290

Poliisi ezudde ebipya ku yatema...

POLIISI ezudde ebipya ku musajja Hamidu Ssennyonjo amanyiddwa nga Munomuno omu ku bagambibwa okuyingirira omugagga...

Mayiga 220x290

Katikkiro alaze engeri ebbula ly’amazzi...

KATIKKIRO wa Buganda, Charles Peter Mayiga ayongedde okukkaatiriza obukulu bw’amazzi mu bulamu bw’abantu n’agamba...

Bazigu1 220x290

Abazigu balumbye amaka e Munyonyo...

ABAZIGU balumbye amaka e Munyonyo ne batemaatema omukozi w’awaka Isa Birimusho n’okumusiba akandooya ne bamuleka...