TOP

Seya ne Seiko bavuddeyo ku bbanja lya Luzinda

By Musasi Wa

Added 1st November 2014

YAGENZE okuva ku kkooti ku Lwokuna akawungeezi, nga yeevuma mikwano gye abasajja ate nga bagagga. Wabula ku Lwokutaano ku makya, mikwano gy’omuyimbi Desire Luzinda abasajja okuli Juma Seiko, John Kaddu ne Haji Nasser Ntege Sebaggala baavuddeyo ne basuubiza okumusasulira ebbanja eryabadde ligenda ok

2014 11largeimg201 nov 2014 121044583 703x422

Bya ERIA LUYIMBAZI, MEDDIE MUSIS, NE ALICE NAMUTEBI


YAGENZE okuva ku kkooti ku Lwokuna akawungeezi, nga yeevuma mikwano gye abasajja ate nga bagagga.

Wabula ku Lwokutaano ku makya, mikwano gy’omuyimbi Desire Luzinda abasajja okuli Juma Seiko, John Kaddu ne Haji Nasser Ntege Sebaggala baavuddeyo ne basuubiza okumusasulira ebbanja eryabadde ligenda okumusuza mu kaduukulu.

Seya Sebaggala; Ndi mwetegefu okuyamba Desire naye alina okusooka okunnyinnyonnyola engeri gye yafunamu ssente ezo”. Kwe kwongerako nti, “bwe kiba nga musajja ye yazimuwa, kyandiba nga yali amukwana kati Desire bwe yagaana, ono ne yeefuula. Sisobola kugaana kukwata ssimu ya Desire naye teyankubidde...” Okwogera bino kyaddiridde ebigambibwa nti Luzinda yakubidde ‘Seya’ n’atakwata ssimu.

Desire Luzinda (ku ddyo) ne mukwano gwe ku kabaga ke ak’amazaalibwa. Ategeka nnyo obubaga n’abusaasaanyako ssente nnyingi.

John Kaddu; Saabadde mu kibuga era nange amawulire nageekangidde ku Facebook. Ng’enda kumukubira essimu tulabe bwe tutetenkanya, biggwe.

Ate Juma Seiko bwe twamukubidde essimu yasoose kubuuza, “Ekiki, Desire yafunye obuzibu? Bwaki?” Bwe yategedde nti bbanja n’agamba nti, “haa, omusaayi gw’Abasebei teguzaawa, kuno si kukolima, naye eby’ewaffe byandiba nga bye bitandise okuyisa Desire mu mbeera eno nga bibanja omwana waffe...”
Kyokka n’agamba, “Yadde omusaayi gwange gunnuma naye nja kumuyamba bw’anaaba anneetaaze. Nneewuunya okulaba nga Desire teyankubidde ssimu...”

                 John Kaddu agambibwa okuba taata w’omwana wa Desire

Ku Lwokuna olweggulo, bawannyondo ba kkooti aba T/A Mutesasira Associates nga bakolera ku biragiro by’omusuubuzi Peter G Mugwanya baawazeewaze Luzinda ne bamutwala mu kkooti enkulu lwa bbanja lya bukadde 15 ze yamwewolako ng’ategeka ekivvulu kye ekyali ku Serena Hotel mu June.

Baamusanze ku fulaati z’e Makerere gy’asula ne bamutwala butereevu mu kkooti ng’ebbanja liweze 16,839,500/-. Ekiwandiiko ekikwata Luzinda kyabaddeko omukono gw’omumyuka w’omuwandiisi wa kkooti Muhamadi Kasakya.
Kigambibwa nti Luzinda yasooka n’awa Mugwanya cceeke ya bukadde 15 n’ebuuka.

Juma Seiko (ku kkono) yagambye nti mwetegefu okuyamba Desire bw’anaamutuukirira. Wano yali ne Kirumira ku kivvulu kya Desire

Desire okusimattuka ekkomera, maneja we Paddy Masembe yasasudde obukadde 10 ne bakkaanya ezisigaddeyo azimaleyo nga November 23,2014. Yabadde akyali mu kkooti ne bakamutema nti waliwo abamubanja abalala abamuteeze.Desire y’omu ku bayimbi abeeyisa mu ng’eri ey’ekigagga.

Tava mu bifo bisanyukirwamu, avuga mmotoka za bbeeyi, apangisa fulaati, buli mwaka ategeka akabaga k’amazaalibwa ge mw’adiibuudira omusimbi.

 

Seya ne Seiko bavuddeyo ku bbanja lya Luzinda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Unity 220x290

Mutabani wa Chamilli anyiga biwundu...

EDMOND Osutu omutuuze w’e Kyebando Nsooba agambibwa okuba omukozi mu bbaala ya DNA Lounge esangibwa ku luguudo...

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka