TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte omuvubuka agambibwa okkuba nnyina emiggo bulisaawa mu bantu

Poliisi ekutte omuvubuka agambibwa okkuba nnyina emiggo bulisaawa mu bantu

By Musasi Wa

Added 31st January 2015

OMUKAZI atutte mutabani we ku poliisi ne muggalira ng'amulumirizza okumukakanangako namukuba n’okwagala okumutta

2015 1largeimg231 jan 2015 132222197 703x422

BYA MOSES LEMISA

OMUKAZI atutte mutabani we ku poliisi ne muggalira ng'amulumirizza okumukakanangako namukuba n’okwagala okumutta
Robinah Namala 42 omutuuze w'e Kanyanya nga musuubuzi mu katale ka Bivamuntuuyo ku Lwokubiri yavudde mu mbeera natwala mutabani we John Kagiri 20 ku poliisi ng’akooye okumukubanga ssaako okumuswazaswaza mu bantu.

Namala yategeezezza nti yazaala abaana bana babiri ne bafa nasigazza babiri nga kati Kagiri amufukidde ekizibu nga yamusuubizza n'omutta , yagambye nti omwana yakwatagana n'ebibinja bya bayaaye batambula nabo nga ne ku Lwokuna lwa wiiki ewedde baagenda e Kanyana ne bamutegera mu kikomera nga baagala kumutta kyokka poliisi ne bakwata ne baggalira
" Banange tuzaala mibiri naye omwana antabudde kati kankubye ekiddako kunzitta singa te babadde basuubuzi kuntaasa abadde agenda kunzitira mu katale , ofiisa bamutwale e Luzira osanga anamanya nti omuzadde wabeeyi tazanyirwako, oba enjaga gyanywa yemuleeta okwagala okunzitta yasooka kwagala kutta mwanyina " Namala bwe yategeezezza
Kagiri eyasoose okubiyita ebyolusago nga bwabogolera maama we nti tanamukubako

oluvannyuma baamulagidde okujjamu engato wano yafukamidde mu maaso nga Namala namwegayirira amusonyiwe nga bwamusuubizza nti tagenda kuddamu kumukuba wadde okukwatagana n'ebibinja by'abayaaye .
"Gwe maama wange siraba lwaki osalawo bansibe sigenda kuddamu kukola bikunyizza nsaba kisonyiwo kuba Luzira teri agenda kunzijjayo okujjako gwe ansibye " Kagiri bwe yategeezezza

Julius Kizito omutuuze e Kanyanya yategeezezza nti abaana okukuba bazadde baabwe n'okwagala okubatta kiva ku bazadde abatafaayo kubagunjula nga bakyali bato nga kino kibavirako okumanya nti bazadde baabwe babagala nnyo mu buli kimu .

Wiiki ewedde poliisi y'oku Kaleerwe yakwata omwana ow'emyaka 13 eyamenya enju nabbamu leediyo
Poliisi yamuyingizza munda Namala nakola sitatimenti erumirizza mutabani okumukuba saako n'okwagala okumutta awatali nsonga omusango guli ku fayiro nnamba 13/27/01/2015

 

 

Poliisi ekutte omuvubuka agambibwa okkuba nnyina emiggo bulisaawa mu bantu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...

Kasasiro11webuse 220x290

Ab’obuyinza batadde amateeka amakakali...

Kasasiro mu kibuga Mukono yeeraliikirizza abakulembeze n'abatuuze ne basaba Gavumenti ebayambe

Besigye1 220x290

Poliisi e Jinja ezzeemu okulemesa...

POLIISI e Jinja ezzeemu okukwata eyaliko pulezidenti w’ekibiina kya FD, Dr. Kizza Besigye n’emuggalira ku poliisi...