TOP
  • Home
  • Amawulire
  • OC wa poliisi akubye mu balwana amasasi ne gatta omu

OC wa poliisi akubye mu balwana amasasi ne gatta omu

By Musasi Wa

Added 7th February 2015

AKULIRA poliisi y’e Kajumiro - Kisozi mu ggombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba akubye amasasi mu batuuze omuntu omu ne gamuttirawo omulala n’addusibwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

2015 2largeimg207 feb 2015 144911007 703x422

Bya PADDY BUKENYA


AKULIRA poliisi y’e Kajumiro - Kisozi mu ggombolola y’e Maddu mu disitulikiti y’e Gomba akubye amasasi mu batuuze omuntu omu ne gamuttirawo omulala n’addusibwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi.

O.C Agaustine Lwamirama okukuba abatuuze amasasi yabasanze bawagira abavubuka abaabadde balwana n’atabanyega kigambo kyonna n’abawandagazaamu amasasi agattiddewo Vincent Kizza 28, ow’e Kirasa ate munne Moses Musisi 27, amasasi ne gamuyiwa ebyenda.

Kigambibwa nti Lwamirama yabadde atamidde era nti ye yalagidde abavubuka okuli Sseppuya abadde abanja munne eyategeerekeseeko erya Collin nti balwane beemale eggoga kyokka bwe baatandise omugenzi Kizza ne Kalanzi (amasasi gwe galumizza) ne batandika okusakaanya olwo n’ava mu mbeera nadduka n’anona emmundu ye n’abakuba amasasi mu bugenderere.

Okusinziira ku muganda w’omugenzi Kizza Hebert Mugume, yategeezezza nti, Ssepuya nga tannalwana ne Collin, yasoose ku poliisi y’e Kajimira n’ayitira mu OC Lwamirama ensonga ze era n’amusaba okumuyamba okumubanjizaako Collin kyokka bwe bamusanze mu kkubo n’abalagira balwane beemale eggoga ebbanja liggweere awo.

Ayongerako nti kyandiba nga Lwamirama yabadde atamidde kubanga bonna abaabaddewo tebategedde bulungi kwe kyavudde abakubemu masasi.

Oluvannyuma abatuuze batabukidde Lwamirama ne yeemulula n’adduka n’afuna we yeekweka mu nsiko okutuusa bwe yakubidde DPC w’e Gomba Mark Ajuna amunone mu nsiko gye yabadde yeekukumye n’amuteeka ku mpingu n’amuggalira mu kaduukulu ka poliisi y’e Kanoni gy’akyakuumirwa.

KAWEESI AGUMIZZA  ABOOLUGANDA LWOMUGENZI

Akulira ebikwekweto bya poliisi mu Uganda, Andrew Felix Kaweesi yagenze mu kifo awabadde bino n’agumya abatuuze n’ab’oluganda lw’omugenzi Kizza n’abategeeza nti, poliisi evumirira ebikolwa bwe bityo n’abasuubiza obukadde bwensimbi butaano okukola ku nteekateka z’okuziika.

 

OC wa poliisi akubye mu balwana amasasi ne gatta omu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kookifelixssekubuuza31 220x290

Atendeka Kiboga bagikubye ne yeekwasa...

Atendeka Kiboga agamba nti ddiifiri yagisalirizza olwo Kireka n'egikuba mu Big League.

Cfb9be2889d143b0855e06c5321dcb4c 220x290

Kabaka avuddeyo ku binyigiriza...

KABAKA Ronald Mutebi ll, avuddeyo ku binyigiriza abantu n’agamba nti, “Tunakuwala nnyo okuwulira ng’abantu baffe...

Guardiola2 220x290

Guardiola yeekengedde n’azza abazannyi...

Guardiola atidde okuddamu okukubwa Spurs eyabawandudde mu Champions League

Satr 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala