TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisita Amelia akaabidde ku mukolo ne gucankalan e Mpigi

Minisita Amelia akaabidde ku mukolo ne gucankalan e Mpigi

By Musasi Wa

Added 19th February 2015

MINISITA Amelia Kyambadde atulise n’akaabira ku kazindaalo, omukolo ne guyimirira okumala akaseera.

2015 2largeimg219 feb 2015 075901340 703x422

Bya PADDY BUKENYA

MINISITA Amelia Kyambadde atulise n’akaabira ku kazindaalo, omukolo ne guyimirira okumala akaseera. 

Yabadde ayitiddwa ng’ekiseera ky’omugenyi omukulu okwogerako eri abantu kituuse, wabula abantu baatabuddwa ng’alemeddwa, ali mu maziga!

Abategesi b’omukolo bazze mangu ne bamukwatako ne bamuzza mu ntebe ye, n’aggyayo akatambaala n’asangula amaziga.

Amelia Anne Kyambadde, minisita w’Ebyobusuubuzi, amakolera n’obwegassi era omubaka wa Mawokota South mu Palamenti, yabadde ku ssomero lya Namabo P/S mu muluka gw’e Kafumu mu Mpigi Town Council ku Lwokubiri era waayiseewo eddakiika nga ttaano ng’abantu tebategeera kigenda mu maaso nga beebuuza ekikaabizza Minisita!

Oluvannyuma yagumye n’akomawo ku kazindaalo n’ategeeza abantu nti, “Munsaasire, embeera y’essomero lino y’enkaabizza.”

Amelia okwogera, abaana b’essomero baabadde baakamala okuyimba akayimba akaaniriza omugenyi omukulu kyokka ng’abasinga tebalina yunifoomu, bali mu bigere ebirimu envunza.

Nga Minisita tannayogera, omu ku baana abaabadde mu ‘kkwaaya’ y’essomero yagenze mpolampola n’amukuba akaama ng’amutegeeza nti enjala ebakalangira ku ssomero awatali ayamba! Amelia yaguddewo ekigwo bwe yagambye nti omu ku baana abali mu P.6 asome ekigambo “Going” eky’Olungereza kyamulemye ne yeebuuza engeri abaana bano gye banaavuganyaamu n’abayizi mu masomero ag’omutindo agali mu Kampala, Wakiso ne Mukono n’awalala.

 

Ebibiina by’essomero tebimala era abamu ku bayizi basomera mu kisiikirize kya muti ng’abamu batudde ku bibaawo ate abalala batudde ku ttaka! Ebibiina ebitono ebiriwo tebifaananika era tebiriimu madirisa n’enzigi!

Akulira essomero lino, Richard Nsubuga, yategeezezza nti ku baana 350 b’alina mu ssomero, kuliko 50 bokka abaasasudde ssente z’ekyemisana era enjala etaataganyizza eby’ensoma naddala olweggulo kuba abayizi baba tebakyasobola na kwogera.

Omukolo gwabadde gwa kudduukirira ssomero lino nga balizimbira kaabuyonjo n’ebibiina bina (4) ebyabaweereddwa Abamerika abaakulembeddwaamu omwana ow’emyaka omwenda amanyiddwa nga Ray ng’ayita mu kibiina ky’obwannakyewa ekya Twezimbe Development Foundation ekikulirwa Amelia Kyambadde eyalambula essomero lino n’asanga abayizi nga basomera mu muti gattako obutabeera na kaabuyonjo, n’asalawo okuliyamba.

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y’e Mpigi, Jacent Ndagire, yategeezezza nti disitulikiti erudde ng’emanyi ebizibu by’essomero lino kyokka nga tebalina ssente, wabula n’agamba nti batandise okulizimbira ennyumba z’abasomesa.

Amelia omusango asinze kuguteeka ku bakulira disitulikiti y’e Mpigi nti tebakoze mirimu gye bateekeddwa kukola ku kutumbula ebyenjigiriza bya disitulikiti ekireetedde okuvumaganya Gavumenti nti tekoze kyokka n’asaba abazadde okusibirira abaana baabwe ekyokulya bakomye okugamba nti abaana ba Gavumenti.

 

Minisita Amelia akaabidde ku mukolo ne gucankalan e Mpigi

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana