TOP

Faaza bamukutte butalabirira baana

By Musasi Wa

Added 8th March 2015

POLIISI ekola ku nsonga z’amaka n’abaana e Nansana mu Wakiso ekutte Faaza Anastansio Isabirye owa klesia ya Orthodox nga kigambibwa nti abadde tal¬abirira baanabe be yazaala mu mukazi owookubiri.

2015 3largeimg208 mar 2015 155435287 703x422

Bya JOB NANTAKIIKA

POLIISI ekola ku nsonga z’amaka n’abaana e Nansana mu Wakiso ekutte Faaza Anastansio Isabirye owa klesia ya Orthodox nga kigambibwa nti abadde tal¬abirira baanabe be yazaala mu mukazi owookubiri.

Fr. Isabirye mutuuze w’e Kyebando mu Wakiso. Mu¬kaziwe owookubiri Zikola Wokyalya yamuloopye ku poliisi nti yagaana okusomesa omwana waabwe omukulu nga kati wa myaka etaano n’obutabawa kyakulya okumala emyaka ebiri.

Wokyalya yategeezezza nti Faaza yamusaba oku¬kuuma ekyama ky’abaana bano n’omukwano gwabwe naye atuuse ekiseera n’awalirizibwa okubyogera olw’omusajja okumusuu-lawo n’amulekera abaana ababiri be yamuzaalamu owatali buyambi.

Yayongeddeko nti okutuuma abaanabe aman¬nya nalwo lwali lutalo ate olwatuuka mu ku babatiza nga tafaayo okutuusa Wokyalya lwe yasitula abaana n’abatwala ku klesia n’alaba faaza eyakola ku nsonga z’oku babatiza era kitaabwe yalabira awo ng’abaana babatiziddwa.

Omukyala agamba nti, Faaza yakoma okumuwa obuyambi ng’ali lubuto lwa myezi esatu olw’omwana owookubiri nga kati awezeza omwaka gumu n’ekitundu.

Wokyalya yagambye nti Faaza yamusaba amuzaalire abaana bana era buli lw’alaba ng’omwana akuzeemu ng’aleetawo laavu era ekivaamu kufuna lubuto ate ng’addamu okubula.

Fr. Isabirye yakkirizza nti abaana babe n’ategeeza nti, omwana omukulu yali atandise okusoma n’alwala n’atandika okumujjanjaba okuva olwo Wokyalya taddangayo kumubuulira mbeera ya mwana.
Yagambye nti ku klesia tebafuna musaala babawaayo kasimbi kaakubeerawo ate Wokyalya yagenda n’amuloopa mu

bakulu n’akasiimo ke yali afuna ne bakayimiriza.
Ye avunaanyizibwa ku nsonga z’amaka ku poliisi eno Conrad Muzoora yat¬egeezezza nti bagenda kukola fayiro batwale Fr. Isabirye mu kkooti avunaanibwe omusango gw’obutalabirira baana ne maama waabwe

 

Faaza bamukutte butalabirira baana

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’