TOP

Bajeti esomwa leero

By Musasi Wa

Added 11th June 2015

OLWALEERO, Minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija lw’asoma bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2015/16 ejjudde emisolo emikakali gavumenti gy’ereese okwongera okukamula ssente mu bantu okusobola okusasulira pulogulaamu zaayo ez’okukulaakulanya eggwangan’okutumbula embeera z’abantu.

2015 6largeimg211 jun 2015 094322717 703x422

Bya Ahmed Mukiibi

OLWALEERO, Minisita w’Ebyensimbi, Matia Kasaija lw’asoma bajeti y’eggwanga ey’omwaka gw’ebyensimbi 2015/16 ejjudde emisolo emikakali gavumenti gy’ereese okwongera okukamula ssente mu bantu okusobola okusasulira pulogulaamu zaayo ez’okukulaakulanya eggwanga n’okutumbula embeera z’abantu.

Bajeti eno ey’obuwumbi 23,900 y’embalirira ya Uganda ekyasinze obunene mu byafaayo by’eggwanga lino bukya lifuna obwetwaze mu October 1962 ng’esingidde wala Bajeti eyasomwa
omwaka oguwedde nga June 12 eyali ey’obuwumbi 15,054 nga yayayanjulwa eyali Minisita w’Ebyensimbi, Maria Kiwanuka.

Minisita Kasaija agenda kwanjula Bajeti eno mu lutuula lwa Palamenti olw’enjawulo ku Serena Hotel olwaleero ku ssaawa 8:30 ku mukolo ogugenda okwetabwamu ne Pulezidenti Museveni n’abagenyi abayite.

Kasaija anaaba asoma bajeti eno nga ne baminisita b’Ebyensimbi mu Kenya, Tanzania, Rwanda ne Burundi nabo bali mu kusoma Bajeti z’amawanga gaabwe mu nkola eyatandikibwawo amawanga
ag’omukago gwa East Africa.

Obutafaananako ng’enkola ebaddewo, Bajeti y’omulundi guno egenze okusomwa nga Palamenti yamaze okugiyitamu muwendo ku muwendo ababaka ne bagikakasa era emisolo emipya n’emikadde egirinnyisiddwa gigenda kutandika okukola nga July 1, 2015.

Bajeti esomwa leero

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gattako 220x290

Hosni Mubarak owa Misiri yafudde...

EYALI Pulezidenti wa Misiri, munnamagye Hosni Mubarak, bannansi gwe baanaabira mu maaso ne bamumaamula ku ntebe...

St14 220x290

Obululu bwa Stambic Uganda Cup...

Obululu bwa Stambic Uganda Cup bukwatiddwa

Got12 220x290

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja...

Emmotoka z'empaka zizzeeyo e Jinja

Muhabati 220x290

Abawanguzi ‘b‘Omuhabati ku kizinga’...

NG’EBULA ennaku mbale Bukedde TV okutwala abawagizi baayo ku bizinga e Kalangala, abantu bakyagenda mu maaso n’okwetaba...

Untitled5 220x290

Owa B2C baamunaaza olweza ne lunoga...

OMUYIMBI w’ekibiina kya B2C, Peterson Ssali amanyiddwa nga Boby Lash akuze. Okumanya akuze n’okukookolima akookolima....