TOP

Ebibiina ebivuganya NRM bikkaanyizza ku mukago

By Musasi Wa

Added 11th June 2015

EBIBIINA byobufuzi ebivuganya ekiri mu buyinza ekya NRM byegasse ne bitongoza omukago gwe batuumye The Democratic Alliance, mwe bagenda okuyita okusimbawo omuntu omu mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2016.

2015 6largeimg211 jun 2015 101652317 703x422

Bya KIZITO MUSOKE, PHIONA NABADDA ne PAUL KAKANDE


EBIBIINA byobufuzi ebivuganya ekiri mu buyinza ekya NRM byegasse ne bitongoza omukago gwe batuumye The Democratic Alliance, mwe bagenda okuyita okusimbawo omuntu omu mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2016.

Mu lukiiko lwe baatuuzizza ku Hotel Africana ku Lwokusatu, ebibiina byobufuzi musanvu okuli; Forum for Democratic Change (FDC) ekikulemberwa Maj Gen. Mugisha Muntu, Uganda Peoples Congress ekya Olara Otunu, Uganda Federal Alliance ekya Betty Kamya.

JEEMA ekya Asuman Basalirwa, Conservative Party ekya Ken Lukyamuzi, Democratic party abaakiikiriddwa ssentebe waakyo mu ggwanga, Muhammad Baswale Kezaala awamu ne Peoples Progressive Party abaakiikiriddwa omumyuka wa pulezidenti, Dick Odur, n’eyaliko omumyuka wa pulezidenti Gilbert Bukenya ow’omukago gwa Pressure for National Unity.

Mu kiwandiiko ekyasomeddwa pulezidenti wa JEEMA, Asuman Basalirwa ku lwa banne, kyategeezezza nti ebibiina byonna ebyobufuzi byakkiriziganyizza okusimbawo omuntu omu ku bwapulezidenti bw’eggwanga.

Ekintu ky’ekimu era kye bajja okukola ku bifo ebirala nga ku ky’omubaka wa palamenti, ku bwa ssentebe bwa disitulikiti, obwa kansala okutuukira ddala ku bukulembeze bwa wansi ku byalo.

Kyokka oluvannyuma Muky Hope Mwesigye, yatuuse mu lukiiko luno era n’aweebwa ekifo ky’oku mwanjo n’ategeeza nga bwe yabadde akiikiridde eyali katikkiro wa Uganda, Amama Mbabazi awamu n’aba muvumenti abaagala enkyukakyuka.

Yategeezezza nti bagenda kutuula balabe agenda okuteeka omukono ku kiwandiiko kino ku lwabwe.
Asuman Basalirwa yategeezezza nti mu bbanga lya wiiki emu, bagenda kuddamu okutuula bakkaanye ku nsonga y’omuntu agenda okubakwatira bendera mu kulonda okujja.

Dr Kizza Besigye yasinzidde mu lukiiko luno n’alabula bannamukago okukitegeera nti gavumenti gye balwanyisa yeetaaga okwewaayo okwenjawulo omuli n’okwefiiriza.

Ebibiina ebivuganya NRM bikkaanyizza ku mukago

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...