TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukulu w’essomero eyalidde ez’ebigezo bya PLE bamuwalirizza okuzisesema

Omukulu w’essomero eyalidde ez’ebigezo bya PLE bamuwalirizza okuzisesema

By Musasi Wa

Added 13th June 2015

OMUKULU w’essomero gwe baakutte bamukunyizza n’akkiriza nti yalya ssente z’abayizi ba P.7 ez’okwewandiisa okukola ebigezo by’akamalirizo ebya PLE.

2015 6largeimg213 jun 2015 105146750 703x422

Bya PADDY BUKENYA

OMUKULU w’essomero gwe baakutte bamukunyizza n’akkiriza nti yalya ssente z’abayizi ba P.7 ez’okwewandiisa okukola ebigezo by’akamalirizo ebya PLE.

Kino kyaddiridde abazadde n’abayizi b’ekibiina ky’omusanvu okuwawaabira hedimasita waabwe, Hannington Nalwanya  nti yalya ssente zaabwe 45,000/- ku buli mwana kyokka n’atabawandiisa. Nalwanya y’akulira Nami Foundation Primary School e Mpigi.

Poliisi bwe yagenze ewuwe okumukwata, mukazi we Grace Nalwanya n’abamu ku basomesa ba Nami Foundation ne bamwegattako ne bakuba poliisi ne bayuza ebyambalo by’abaserikale.

Wakati mu lutalo olw’amaanyi, poliisi yakutte Nalwanya ne mukaziwe n’ebatwala ku poliisi kyokka bwe batuusiddwaayo ne basooka okwegaana.

Agness Kakembo alina abaana babiri  mu P7 mu ssomero lino okuli Antony Ssenteza ne David Kikomeko yategeezezza poliisi nti yasasula 90,000/- ez’okubawandiisa kyokka bwe bagenze ku disitulikiti mu ofiisi y’ebyenjigiriza ne bakizuula nga Nalwanya yawandiisa omwana we omu yekka Marion Nanfula kwe kusalawo beekubire enduulu.

Oluvannyuma poliisi yakunyizza Nalwanya n’akkiriza okufuna ssente okuva ku bazadde n’abayizi.

Akulira bambega ba poliisi e Mpigi Rose Natukunda yagambye nti omukulu w’essomero yakkirizza okusasula ensimbi z’abayizi bonna 16 basobole okwewandiisa okukolera PLE mu masomero amalala, kubanga wakyaliwo omukisa gw’okwewandiisa mu kitongole ky’ebigezo ekya UNEB.

Kyokkamukyala we, Grace Nalwanya yagguddwaako n’emisango ebiri okuli ogw’okukuba n’alumya abaserikale n’okugezaako okulemesa okukwata omuntu ateeberezebwa okuba omumenyi w’amateeka ku fayiro SD:34/04/06/2015.

Natukunda yagambye nti baayimbudde Nalwanya ne mukaziwe ku kakalu ka poliisi ne balagirwa okusasula ssente zonna nga wiiki eno tennaggwaako ate Grace n’alagirwa okusigala nga yeeyanjula.

 

Omukulu w’essomero eyalidde ez’ebigezo bya PLE bamuwalirizza okuzisesema

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lip2 220x290

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu...

Okutuuza Ssaabalabirizi kuli mu ggiya

Set1 220x290

Museveni awabudde ku nteekateeka...

Museveni awabudde ku nteekateeka y’ettaka eneegaggawaza Bannayuganda

Tip2 220x290

Abbye abaana babiri n’abatwalira...

Abbye abaana babiri n’abatwalira muganzi we

Top2 220x290

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso...

Ebyabaddewo mu lutalo lwa Pallaso e South Africa annyonnyodde

Nem1 220x290

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze...

Leero mu mboozi y'omukenkufu tukulaze engeri gy'oyinza okkozesaamu empirivuma okulongoosa omutima n'okugumya ebinywa...