TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ssabalabirizi eyawummula Nkoyoyo asimattusse akabenje

Ssabalabirizi eyawummula Nkoyoyo asimattusse akabenje

By Musasi Wa

Added 30th June 2015

Eyali Sabalabirizi we Kkanisa ya Uganda Dr Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo awonye okufiira mu kabenje, emmotoka ye bwekoonye owa boda boda negwa neyefuula.

2015 6largeimg230 jun 2015 174941567 703x422

 


Bya Luke Kagiri

Eyali Sabalabirizi we Kkanisa ya Uganda Dr Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo awonye okufiira mu kabenje, emmotoka ye bwekoonye owa boda boda negwa neyefuula.

Ekyewuunyisa, akabenje kano okugwawo Dr Nkoyoyo abadde yakava mu motoka eno nga asigadde Mityana.  Akabenje kano kagudde Kiganda, ze mayiro nga asatu okuva e Mityana ng’odda e Mubende.

Abantu basatu be bafunye ebisago ne baddusibwa mu malwaliro ng’embeera mbi ddala.

Dr Nkoyoyo yakulira akakiiko ke kkansia ya Uganda akanoonya ensimbi ez’okuzimba ekiggwa kya bajulizi e Namugongo era olwaleero abadde akyadde mu Bulabirizi bwe Mityana okusisinkana Abasumba okubakunga ku pulojekiti eno.

Okutuuka e Mityana Dr Nkoyoyo weyasigadde olwo abantu be abalala n’abasindika e Mubende mu Busabadinkoni bw’e Buwekula, okukola omulimu gwe gumu kyokka babadde bakomawo ne bafuna akabenje.

Motoka ya Dr Nkoyoyo namba UAW 287 Y yekoonye owa boda boda abadde asala ekkubo, olwo n’egwa neyefuula. 

Owa boda boda ategerekese nga Innocent Ssekanjako nga mutuuze we Kiganda atwaliddwa mu ddwaliro e Mityana ng’embeera mbi ddala.

Owa Bodaboda ng'ali mu ddwaliro e Mityana

Bbo abantu ababiri ababadde mu motoka ya Nkoyoyo bategerekese nga Mukasa Bulwadda ne Dr Fred Kakembo, nga bano bongezeddwayo e Kampala okujanjabibwa.

Dr Nkoyoyo ategeezeza nti embeera y’abantu bano tebadde mbi ng’ayina esuubi nti bajja kutereera.
Alex Yeheyo akulira eby’ebidduka e Mubende akakasizza akabenje kano n’agamba nti bakyanonyereza kwe kavudde.

Ssabalabirizi eyawummula Nkoyoyo asimattusse akabenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...

Newsengalogob 220x290

Ayagala tuddiηηane

WALIWO omusajja twali twagalana n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana naye kati yakomawo gyendi nti ayagala...

Newsengalogob 220x290

Sikyafuna bwagazi kwegatta

Naye ng’omwami wange alina abakyala abalala basatu nze takyanfaako era agamba nti abakyala abalala bamusanyusa...