TOP

Engeri Bp. Kalanda gye yafiiridde mu buliri

By Musasi Wa

Added 20th August 2015

OMUSUMBA w’e Fort Portal eyawummula , Paul Lokiru Kalanda yafiiridde mu buliri nga yeebase, ku kigo e Villa Maria mu Buddu ng’ aweza emyaka 88.

2015 8largeimg220 aug 2015 104402993 703x422

Bya JOHNBOSCO MULYOWA

OMUSUMBA w’e Fort Portal eyawummula , Paul Lokiru Kalanda yafiiridde mu buliri nga yeebase, ku kigo e Villa Maria mu Buddu ng’ aweza emyaka 88.

Kalanda yafiiridde mu nnyumba ye mwe yawummulira mw’abadde alabiririrwa okuva mu 2003 lwe yawummula mu butongole obuweereza bw’essaza ly’e Fort Protal mu Toro. 

Okusinziira ku babadde babeera n’omugenzi okuli Willy Mutebi,  Bp. Kalanda yasiibye mulamu bulungi ku Lwokubiri era bwe bwazibye,  yamalirizza bulungi okulaba amawulire Agataliiko nfuufu n’asaba essaala ey’ekiro  n’asiibula baasula nabo mu nju ne yeggalira mu kisenge kye ne yeebaka. 

Ku makya ebadde nkola ye okukeeranga ku ssaawa 12 okukulemberamu okusoma Missa kyokka jjo Abakristu ne bannaaddini abaakedde mu klezia baakanze kumulinda nga tafuluma.  Bwe zaaweze ssaawa 1.00 ey’oku makya eggulo,ne basalawo okugenda okumuyita mu kisenge mw’abadde asula kyokka baagenze okumutuukako baasanze yafudde dda.

Amangu ago amawulire g’okufa kwe  gaatandise okusaasaanira eggwanga era abasosodooti ab’enjawulo  ne batandika okweyiwa e Villa Maria okukungubagira awamu.

Mu baasoose okutuuka mwe mwaabadde n’omusumba w’e Masaka,  Bp.  John Baptist Kaggwa ng’ono amangu ddala yakulembeddemu Mmisa eyeetabiddwaamu bannaddiini n’Abakristu abalala.

YALAAMA KUMUZIIKA BUKALASA

Oluvannyuma lwa Mmisa Bp. Kaggwa yalangiridde nga Bp. Kalanda bwe  yakola ekiraamo nga mu bingi ebikirimu yanokoddeyo eky’okulaama okuziikibwa mu klezia ku seminaariyo e Bukalasa ng’eno yakolerayo ebbanga ng’akulira seminaariyo eno nga tannasindikibwa Moroto ng’Omusumba nga March 22, 1981.

Bp. Kaggwa yagambye  nti olw’ekitiibwa ky’omugenzi ng’ate asuubirwa okuziikibwa abantu bangi nga n’abamu bali bweru wa  ggwanga, baasazeewo aziikibwe ku Lwakutaano nga August 21,2015 ku ssaawa 8.00 ogw’emisana. 

 

Engeri Bp. Kalanda gye yafiiridde mu buliri

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Bujingo2703422 220x290

Bugingo ennyumba gye yazimbidde...

OMUSUMBA Aloysius Bugingo akudaalidde abantu ababadde balowooza nti, enju ye gaggadde gy’azimbira omugole Susan...

Lab2703422 220x290

Aba Ssebulime balangidde minisita...

FAMIRE ya Ronald Ssebulime banyiivu olwa kye baayise Minisita Nantaba okwongera okubalaata n’atuuka n’okujaguza...

Tta 220x290

Nantaba awadde Museveni amannya...

MINISTA Idah Erios Nantaba akaabidde mu kusaba mw’agambidde nti abaagala okumutta bali mu Gavumenti mwennyini era...

Lumba 220x290

Abadde afera abaagala Viza bamuyodde...

KITUUFU Kampala si bizimbe. Abantu basula bayiiya ng’ate abalala bafera bannaabwe okuba obulungi.

Kola1 220x290

Empeta za bba wa Babirye zibuzaabuza...

ABALONZI b’omubaka Paul Musoke Ssebulime owa Buikwe County North era bba w’omubaka omukazi owa Buikwe bali mu kwewuunaganya...