TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Dr. Muyingo alaze abavubuka engeri y’okulwanyisa obwavu

Dr. Muyingo alaze abavubuka engeri y’okulwanyisa obwavu

By Musasi Wa

Added 26th September 2015

MINISITA omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. John Chrysestom Muyingo, akubirizza abavubuka obuteesamba byabulimi n’obulunzi bwe baba baakweggya mu bwavu.

2015 9largeimg226 sep 2015 083456277 703x422

Bya DICKSON KULUMBA

MINISITA omubeezi ow’Ebyenjigiriza ebisookerwako, Dr. John Chrysestom Muyingo, akubirizza abavubuka obuteesamba byabulimi n’obulunzi bwe baba baakweggya mu bwavu.

Mu kusaala Iddi y’okusala ebisolo ku Lwokuna ku muzikiti e Bamunaanika, Dr. Muyingo, era omubaka w’ekitundu kino mu Palamenti, yagambye nti, “Ekisanja ekiwedde tubadde tufuba okusomesa abaana, okulabirira bakadde baffe, okulongoosa enguudo, okuddaabiriza amasinzizo n’ebirala. Kyokka ekizibu ekiriwo mu kiseera kino kya mirimu naddala eri bannaffe abavubuka.”

Yagambye nti mu kaweefube w’okwagazisa abavubuka okwenyigira mu byobulimi, abo abaliko we balimira baweereddwa ebbomba n’ensigo okubayambako mu mulimu gwaabwe. Yagasseeko nti, “Tugenda kuteekawo ffaamu ey’ekyokulabirako e Kakoola okusobozesa abalimi naddala abavubuka okugendangako okubeerako bye bayigirako tusobole okukwata olutalo lw’obwavu entegetege.”

Bino yabyogedde mu lukuhhaana oluvannyuma lw’okusaala, Abasiraamu gye baamutuumidde n’erinnya lya Jafari era bakira buli ky’ayogera nga bakiwereekereza n’engalo ssaako emizira! 

Omuyambi w’e ow’ebyobufuzi, William Mwebe yategeezezza nti okulwanyisa obwavu mu bavubuka kuzze kukolwako bwe yatandika okugaba bodaboda eri abavubuka mu magombolola ataano agali mu Bamunaanika  omuli ab’e Kiziri - Bugema (Kalagala) abaweebwa pikipiki ebbiri, e Ziroobwe n’e Wabitungulu pikipiki bbiri ate ab’e Kikyusa, Ssekamuli n’e Bamunaanika bodaboda emu era enteekateeka eno ya kugenda mu maaso.

Ebirala ebiri mu nteekateeka y’okugonjoola ekizibu ky’ebbula ly’emirimu kwe kussa abavubuka mu matendekero g’ebyemikono, bagende okufulumayo nga baliko bye basobola okwekolera. 

Mu kitundu kino muteereddwaamu amatendekero  g’ebyemikono okuli; Mirembe Vocational Busiika - Kalagala, Bwavu Mpologoma e Kibiriizi e Bamunaanika, sso ng’ettendekero eddala Gavumenti erizimba Mulajje mu Muluka gw’e Kyampisi mu ggombolola y’e Bamunaanika.

Ku ludda lw’Ebyenjigiriza, Dr. Muyingo yategeezezza ab’e Bamunaanika nti abaana baabwe munaana (8) abakola obulungi ku S6 basobola okuweebwa ebifo mu yunivasite e Mbarara okusoma obusawo ate 12 baayiseemu okufuna looni za Gavumenti okusoma emisomo egy’enjawulo mu yunivasite ze baagala.

Mu ngeri y’emu, Dr. Muyingo yasabye amasomero gonna aga Pulayimale mu kitundu okutandika n’omwaka ogujja okutandika ebibiina bya nnassale kubanga enkola eno y’egenda okuyamba okugunjula n’okuyigiriza abaana ebintu eby’enjawulo ebyetaagibwa mu bulamu nga bakyali bato.

Ye ssentebe w’eggombolola y’e Bamunaanika, Stephen Ssebidde yasabye Muyingo, eyamaze okuyingira ekibiina kya NRM, okwongera okubasakira ebintu ebiwera okuva mu Gavumenti.

Olukuhhaana luno lwetabiddwaako ne Ssentebe w’eggombolola y’e Kalagala, Abdallah Luboyera n’abalala mu mitendera egy’enjawulo.

Mu kusaala okwabadde mu muzikiti e Bamunaanika, Imaamu waagwo Sheikh Edirisa Muyanda yaloopedde Dr. Muyingo ng’omuzikiti gwabwe bwe gwafuuka ekisulo ky’ebisolo ebyegazaanyizaamu olw’abatuuze obutabisiba.

Mu kwanukula, Dr. Muyingo yabawadde 2,400,000/- bazikozese okugula akatimba akanaasiba olukomera okwetoolooza ettaka ly’omuzikiti guno.

Dr. Muyingo alaze abavubuka engeri y’okulwanyisa obwavu

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Ka1 220x290

Carol Nantongo bamukoledde akabaga...

Omuyimbi Carol Nantongo bamusuddeko akabaga k'amazaalibwa n'akaaba olw'essanyu.

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta