TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuyaga gukubye emmeeri e Bermuda mu Amerika n'ebulirawo!!

Omuyaga gukubye emmeeri e Bermuda mu Amerika n'ebulirawo!!

By Musasi Wa

Added 10th October 2015

OMUYAGA gukubye emmeeri El Faro ebaddeko abantu 33 ne konteyina 391 z’ebyamaguzi okubadde ne lukululana 294 ne gugikunguza mayiro ezisoba mu 200 mu ssaawa mbale oluvannyuma ne gigituusa mu kifo eky’omutawaana ku liyanja Atalantic ekimanyiddwa nga Bermuda oluvannyuma n’ekka wansi ffuuti 15,000!

 MIAMI, FLORIDA

OMUYAGA gukubye emmeeri El Faro ebaddeko abantu 33 ne konteyina 391 z’ebyamaguzi okubadde ne lukululana 294 ne gugikunguza mayiro ezisoba mu 200 mu ssaawa mbale oluvannyuma ne gigituusa mu kifo eky’omutawaana ku liyanja Atalantic ekimanyiddwa nga Bermuda oluvannyuma n’ekka wansi ffuuti 15,000!

Olugendo emmeeri eno lwe baagikunguzza, singa ebadde yaakuluseeyeeya mu mbeera eyaabulijjo, kyandigitwalidde wiiki nga bbiri kubanga olw’obuzito bwe yabadde etisse n’obwaguuga bwayo esenvula mpolampola.

Omulambo gumu gwokka amagye ga Amerika gwe gaasobodde okuzuulako nga gwabadde gw’oyo eyawandagadde ng’omuyaga gwakagikuba nga kirabika yabadde waggulu ng’ayota ku kasana.

Mu kiseera kino amagye ga Amerika gali mu kusala magezi okuzuula akabokisi akakwata amaloboozi okumanya buli kintu ekyatuuka ku mmeeri eno era nga kino kisuubirwa okumalirizibwa mu myezi 18 okuva kati.

Pulezidenti wa Amerika, Barrack Obama, yalangiridde mu butongole nti tewakyali mukisa gwonna kuzuula abantu 33 baabadde ku mmeeri eyabuze nga bakyaali balamu,

Ku bantu 33 a baabadde ku mmeeri eno eyitibwa ‘El Faro’ eyabuze ku Lwokuna, kwabaddeko Abamerika 28 ne bannansi ba Poland bataano.

Yabulidde mu Bermuda Triangle okumpi n'ebizinga by'e Bahamas wakati mu lugendo lwayo okuva e Jacksonville mu ssaza ly'e Florida mu Amerika ng'eyolekedde ebizinga by'e Puerto Rico. Emmeeri El Faro erina obuwanvu bwa ffuuti 735.

Omuyiggo ogw'okutaasa obulamu bw'abantu 33 abaabadde ku mmeeri eno gwatandikirawo ku Lwokuna, Amerika bwe yayungudde ekibinja ky’aby'abajaasi ab'oku mazzi ekya 'US Coast Guard' abeeyambisizza ennyonnyi nnamunkanga okulawuna eriyanja Atlantic.

Ku Ssande, abajaasi ba ‘US Coast Guard’ baasobodde okulengera ezimu ku konteyina nga zitengejjera ku mazzi mu Bermuda Triangle n'omulambo gumu ogw'omu ku bantu 33 abaabadde ku mmeeri eno. Omuyiggo gweyongedde okutojjera nga buteerere okutuuka eggulo ku Lwokuna, bwe kyasaliddwaawo okunnyuka.

Capt. Mark Fedor owa US Coast Guard yagambye nti, eby'okununula abaabadde ku mmeeri baabivuddeko kubanga ennaku omusanvu eziyiseewo nga tebalina muntu gwe banunudde zimala okubakakasa nti, abantu abo baafudde.

Capt. Fedor yagambye basuubira nti, olw'obuzito bw'emmeeri eno n'emigugu gye yabadde yeetisse, erabika yabbidde mmita nga 4,500 wansi w'eriyanja lino.

Ab'ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera ey'obudde mu Amerika ekya ‘The National Weather Service’ (NWS) baategeezezza nti, emmeeri eno yakubiddwa omuyaga ogw'amaanyi oguyitibwa Joaquin, okugambibwa okuba omuyaga ogusinga okuba ogw'amaanyi ogukuntira ku liyanja Atlantic.

Baagambye omuyaga guno gugenda kuleeta amataba n'okwanjaala kw'amazzi mu masaza ga Amerika agali ku mbalama z'ennyana.

Pulezidenti Obama yaweerezza obubaka obukubagiza eri aba Fanmire z'abantu 33 abaatokomokedde mu mmeeri eno.

Omuyaga gukubye emmeeri e Bermuda mu Amerika n''ebulirawo!!

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...