TOP

Minisita Rose Namayanja asimattuse akabenje

By Musasi Wa

Added 20th October 2015

Omuwanika we kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM era nga ye mubaka omukyala owa district ey'e Nakaseke Rose Namayanja agudde ku Kabenje naddusibwa mu ddwaliro nga ali bubi.

Bya Musasi waffe

Omuwanika we kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM era nga ye mubaka omukyala owa district ey'e Nakaseke Rose Namayanja agudde ku Kabenje naddusibwa mu ddwaliro nga ali bubi.  

Namayanja akabenje kano akafunidde Kigoogwa ku luguudo lw’e Bombo.  

Omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo atutegeezezza nti Namayanja abadde agenda Kasangombe okutema evvunike ly’okuzimba eddwaliro emmotoka ye neyambalagana n'emmotoka endala mu bitundu bye Kigoogwa. 

Avunanyizibwa ku byamawulire mu kitebe kya NRM Roger Mulindwa akakakasizza nti wadde Namayanja agudde ku kabenje naye akyali mulamu era ali mu ddwaliro lye Nakasero afuna bujanjabi.

Mu mmotoka abaddemu ne nnyina mukyala Catherine Namirembe, omukuumi we Richard Kyazze ne dereeva we Ismail Ssebunnya nga bonna baweereddwa ebitanda mu ddwaliro e Nakasero.

 

Minisita Rose Namayanja asimattuse akabenje

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

No Matching Document

Emboozi endala

Paska 220x290

Mukoka asse omukadde

Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze ku kyalo Kaliisizo South mu Kalisizo Town Council mu disitulikiti y'e Kyotera,...

Fari1 220x290

Laba amaziga g’essanyu.

Munnakatemba era omuzannyi wa firimu Faridah Ndausi bamukoledde akabaga k'amazaalibwa nga takasuubira, akaabye...

Mbarara City ekutte Nkata ku nkoona...

Brian Ssenyondo akomezeddwawo okutwala Mbarara City mu maaso oluvannyuma lw'okukwata Nkata ku nkoona.

Buloba1 220x290

Blick afunzizza engule y'ezaakafubutuko...

Blick kati abuzaayo empaka za mirundi 2 (Kapeeka ne Boxing day)okulangirirwa nga kyampiyoni w'ezaakafubutuko....

Img3804webuse 220x290

Ekivvulu kya Toto kiri mu ggiya...

Ekivvulu ky'abaana ekya ToTo ekitegekebwa Vision Group kyengedde nga kati olwa December 8 lwe lulindirirwa lwokka...