TOP

Al Shabaab esindise abatujju ku Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd December 2015

Abatujju ba al-Shabab bayungudde ekibinja ky'abatujju okutega bbomu n'okutataaganya emirembe mu Uganda

Konda 703x422

Omutujju ng'asitudde emmundu





Bya basasi baffe


Al Shabaab eyungudde ekibinja ky’Abatujju okutega bbomu n’okutabangula emirembe mu mawanga ag’enjawulo omuli Uganda ne Kenya mu biseera by’ennaku enkulu.
 

Abatujju aba al Shabaab beeyawuddemu obubinja obutonotono, era waliwo akabinja akaweereddwa ebiragiro okwesogga Uganda okutegeka obulumbaganyi bwa bbomu mu nnaku ez’eggandaalo lya Ssekukkulu n’Olusooka omwaka.
 

Bino olugudde mu matu ga Poliisi n’abeebyokwerinda abalala mu Uganda, ne basitukiramu okunyweza okwerinda ku nsalo zaayo omuli eya Kenya, Tanzania, Rwanda ne DR Congo.
Gavumenti ya Kenya ye yasoose okubega enteekateeka z’aba Al Shabaab n’efulumya ebimu ku bifaananyi by’abatujju n’amannya gaabwe ne bitimbibwa mu bifo ebyolukale mu kibuga Nairobi n’ebibuga ebirala ebinene mu Kenya nga balabula abantu okuloopa abatujju.
 

Ebifaananyi ebyafulumiziddwa by’abatujju 11 nga bonna nzaalwa za Somalia ng’abeebyokwerinda mu Kenya bagamba nti abasajja abo, be bamu ku bibinja eby’enjawulo ebyasensedde Kenya n’amawanga ag’omuliraano okuli ne Uganda.
 

Abatujju 11 Kenya be yatimbye ebifaananyi byabwe kuliko: Abdifatah Abubakar Abdi, oluusi eyeeyita Musa Muhajir, nga yabeerako e Mombasa nga tannaddayo Somalia era ono agambibwa okubeera nga y’akulira ekibinja ekyasindikiddwa mu Kenya.
 

Abalala ye; Abdifatah Abubakar Abdi, Abdalla Muumin Abdalla, Suleiman Mohamed Awadh, Abdalla Siraj Marum, Mohamed Ali Ahmed, ne Hussein Said Omar, amanyiddwa nga Babli, ng’ono muto w’omu ku batujju abasinga okunoonyezebwa mu Kenya ayitibwa Ahmed Said Omar, wabula yakazibwako erya Dogo.
 

Waliwo ekibinja eky’abatujju abalala abakulirwa, Issa Abdalla Ahmed, amanyiddwa nga ‘Kauni’ ne Abdikadir Abubakar Abdikadir nga kino kirowoozebwa okuba nga kyasindikiddwa mu Uganda.
 

Ekibinja ekirala nakyo kiduumirwa, Anwar Yogan Mwok ne Omar Patroba Juma, eyakazibwako erya Patroba Juma Owiti, nga bano bagambibwa okukulira ekibinja ekyakuguka mu kutabula ebiragalalagala ne bakolerera bbomu zirwasamayinja.
 

Bombi, Mwok ne Juma banoonyezebwa gavumenti ya Kenya olw’olukwe lwe baali baluse okutega bbomu ku nkambi y’amagye e Buare mu June omwaka oguwedde.


Mwok, ow’emyaka 35, yali Mukristaayo wabula n’akyuka n’adda mu Busiraamu mu 2013 ne yeegatta ku Al Shabaab era yali muzannyi wa mupiira mu kiraabu ya Mathare United Football Club e Kenya.


Waliwo n’abatujju abalala babiri; Ismael Mohammed Shosi eyakazibwako Ismael Mmanga, ng’ono alina ekibinja omuli Mahir Khalid Riziki, Hamisi Mwacheta eyakazibwako erya Bilal ne Abubaka Majani.
 

 

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango yategeezezza nti ebyokwerinda munda mu ggwanga ne ku nsalo zonna binywezeddwa, tewali ajja kutabangula mirembe gya Bannayuganda mu nnaku enkulu.
 

“Njagala okukakasa Bannayuganda Poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe byeteeseteese bulungi okubakuuma si mu nnaku nkulu zokka wabula ebbanga lyonna.
Ebiri e Kenya tubigoberera era tukolaganira wamu ne bannaffe abo”, Onyango bwe yategeezezza.
 

Onyango yasabye abantu okubeera obulindaala bayambeko ku Poliisi okugitemyako singa wabaawo embeera yonna oba omuntu gwe beekengedde.
 

Yagambye nti wadde abagoba ba takisi mu kiseera kino ne bbaasi baagala nnyo ssente nga batwala abantu n’emigugu abagenda okulya Ssekukkulu, balina okusooka okwekenneenya biki omusaabaze by’asibye mu mugugu balyoke baguteeke mu bbuutu.

 

Yasabye n’abaamaduuka mu akeedi beegendereze nnyo abeefuula bakasitoma ne basaba babaterekere ku bintu byabwe nti tebakkiriza kubanga abatujju bayinza okukozesa omukisa guno ne batta abantu abawera mu kitundu ekyo.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fot2 220x290

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye...

Omucuula guyamba ku lubuto olwesibye

Kab3 220x290

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza...

Owoolubuto weekwate ekiyondo okutereeza emmeeme

Gat2 220x290

Abayizi n’abaana nabo basobola...

Abayizi n’abaana nabo basobola okulumirirwa abalala mu kisiibo

Wab2 220x290

Nja kufiira ku babba eddagala -...

Nja kufiira ku babba eddagala - Ssentebe

Fut2 220x290

Omusawo bamukutte kufera bantu...

Omusawo bamukutte kufera bantu