TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnamukadde ne bazzukulu be 5 basimattuse okufiira mu muliro ku Ssekukkulu

Nnamukadde ne bazzukulu be 5 basimattuse okufiira mu muliro ku Ssekukkulu

By Musasi wa Bukedde

Added 26th December 2015

Nnamukadde ne bazzukulu be 5 basimattuse okufiira mu muliro ku Ssekukkulu: Ebintu byonna byasirikidde mu muliro kati ge bakaaba ge bakomba!

Baana 703x422

Nnamukadde Nagawa ne bazzulu be abaasimattuse omuliro

 

FAMIRE y'abantu 5 esimattuse okufiira mu muliro ogutannategeerekeka kwe guvudde bwe gukutte ennyumba ya Namwandu ekiro ekikeesezza leero ku Lwomukaaga ne basula wabweru.


Abalala babadde bali mu bikujjuko by'okukuza Ssekukkulu nga Nnamukadde Nnamwandu Margret Nagawa (60) omutuuze w'e Bwamulamira mu ggombolola y'e Kammengo ne bazzukulu be bali mu maziga omuliro ogutamanyiddwa gye guvudde bwe gwakutte ennyumba yaabwe n'eyaka yonna n'ebintu byonna ne biggyiramu.

Ennyumba ya Nagawa eyakutte omuliro.

Nagawa yategeezezza nti omuliro guno tamanyi kwe gwavudde kubanga bazukkulu be baabadde bweru ku kifugi nga basumagidde, baabaggyewo buggya ng'emmanju etandise okugwamu olwomuliro ogwabadde gwesooza.


Abazukulu abasimatuse okufiira mu muliro guno kuliko; Joseph Kabone myaka 3, Susan Nabasagala ne Zuula Namuddu 7.


Nagawa ne bazukulube tebasobodde kutaasa kintu kyona era nga baasuze bweru mu mpewo ekiro kyonna wabula poliisi we yatuukidde ng'ennyumba yonna esanyeewo.


Nnamukadde Nagawa ne bazzulu be abaasimattuse omuliro. EBIFAANANYI BYA PADDY BUKENYA

Abamu ku badduukirize bateebereza nti wandibaawo omuntu w'ettima eyabazizza Nagawa ng'ali mu kiyungu n'akoleeza omuliro n'aguyisa mu ddirisa wadde nga poliisi y'e Kammengo ebiwakanyizza.


Aduumira poliisi ye Kammengo, Yvonne Kyomuhendo ategezeza nti yandiba nga si muntu wa ttima eyateekedde ennyumba eno omuliro ng'abadduukirize bwe babadde bateebereza wabula wandibaawo omu ku bazzukulu ba Nagawa eyakoleezezza akataala ka munakutadooba n'akeerabira mu kisenge nga kaaka omuliro kwe gwavudde.


Nagawa w'somera bino ali mu maziga era awanjagidde abazirakisa okubadduukira n'obuyambi nga engoye n'ebintu ebikozesebwa kuba tebasigazza kantu konna era tebamanyi waakutandikira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Agambibwa okuwoowa Kenzo ne Rema...

Sheikh ono okuvaayo kiddiridde Kenzo wiiki ewedde okutegeeza nga Muzaata bwe yamuvumidde obwereere n’amulangira...

Stabua2 220x290

Mbalinze nkya ku Obligatto- Stabua...

Stabua Natooro akoowodde abantu okweyiwa mu konsati enkya ku Club Obligatto

Namaalwa1 220x290

Omukungu agobye ffamire ye mu muka...

OMUKUNGU wa gavumenti agobye ffamire ye mu maka. Kigambibwa nti agawasirizzaamu omukyala omulala.

Magogo1 220x290

Magogo bw'aba yalya enguzi tadda...

MUNNAMATEEKA Fred Muwema agambye nti emyezi ebiri FIFA gye yasibye Moses Magogo ng'akkirizza omusango gw'okutunda...

Haruna11 220x290

Embaga za ba Celeb; Tukuleetedde...

Ekyama mu bakazi Haruna Mubiru b'awasa. Anoonya baana ba bagagga.