TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omusuubuzi w'omu Kampala attutte Ivan Ssemwanga ku poliisi lwa kumukuba

Omusuubuzi w'omu Kampala attutte Ivan Ssemwanga ku poliisi lwa kumukuba

By Musasi wa Bukedde

Added 30th December 2015

OMUSUUBUZI w’emmotoka mu Kampala, Gadafi Sadat Sserusiba ow’e Munyonyo awawaabidde Ivan Ssemwanga n’abamu ku bakanyama ba Guvnor ng’abalanga okumukuba n’okumubbako ssente

Semwa1 703x422

OMUSUUBUZI w’emmotoka mu Kampala, Gadafi Sadat Sserusiba ow’e Munyonyo awawaabidde Ivan Ssemwanga n’abamu ku bakanyama ba Guvnor ng’abalanga okumukuba n’okumubbako ssente.

Omusango guli ku poliisi ya Jinja Road ku fayiro nnamba GEF/110/2015. Gadafi yategeezezza nti olutalo lwatandika mu 2014 bwe baali mu Club Guvnor Ssemwanga bwe yalumba abawala mikwano gya Gadafi n’akwata omu mu kiwato nga bw’amubuuza nti lwaki yeesiba ku busajja obwavu ng’abalina ssente weebali.

Gadafi ng'alaga enkovu Ssemwanga ne bakanyama be ze baamutuusaako oluvannyuma lw'okumusindika mu bbaala n'agwa eri 

Kuno yagattako okumukuba n’amubbako ssente n’ebintu ebibalirwamu obukadde 46. Mu bino mwalimu essimu y’ekika kya IPhone 6+, doola 6000, obukadde 3, essaawa ya doola 10,000, omukuufu, okumuyiira omwenge n’okumunnyiga embiriizi.

Agamba nti olulala yamusanga ku Serena ku kabaga n’amulumba ne bayomba. Gadafi yategeezezza nti ekisinga okuluma Ssemwanga kwe kuba ng’abeera n’omuyimbi Diamond eyamubbako mukazi we Zari.

Wabula Ivan Ssemwanga yategeezezza nti, ‘nze saagala kwogera ku Gadafi kubanga akimanyi nti ayagala kunzimbirako linnya.

Essimu ya Gadafi gy’agamba nti Ssemwanga yagyonoona. Ebifaananyi bya Joseph Mutebi

Ebifo byonna by’ayogerako gy’agamba gye nnamukubira birimu kkamera, bagende bazikebere balabe oba nali mukubyeko.

Nze nnakola ssente zange n’erinnya kati saagala buli muvubuka kunneeriggyako mu bintu ebitaliimu okwonoona erinnya lyange.

Ye akulira bambega mu Kampala East, Robert Bogere yagambye nti kituufu Ssemwanga baamugguddeko omusango gw’okubba ssente n’okukuba Gadafi era twatandise dda okunoonyereza. 

Bogere leero asiibye ku poliisi  poliisi ya Jinja Road nga yeetala gattako okukola sitetimenti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kig7 220x290

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20...

Omugagga Ham azzeemu ebibuuzo 20 ku katabo ke n'obulamu bwe.

Abamukubakulembezebekasawoababaddebeetabyemulukungaanaluno 220x290

Ab'e Kasawo bakukkuluma olw'ababasaba...

“Twetaaga okumanya ekituufu ku nsonga z’okwewandiisa oba nga ssente ziteekeddwa okusasulwa tusabe obuyambi okuva...

Kabuta2 220x290

‘Temwongeza bbeeyi ya nnyama ku...

Abatemi b'ennyama abeegattira mu kibiina kya, “Kampala Butcher Trader’s Association” (KABUTA) ekikulemberwa Sennabulya...

Ras22 220x290

Bakitunzi ba Rashford bamutaddeko...

Rashord, 21, yava mu akademi ya ManU okwegatta ku ManU kyokka waliwo ebigambibwa nti Barcelona emuperereza.

Barnabasnawangwe703422 220x290

Makerere University esabye Gav't...

YUNIVASITE y’e Makerere esabye gavumenti egyongere obuwumbi 47 ziyambe mu kukola ku by’okusasula emisaala gy’abakozi...