TOP

Bbiici zigguddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 1st January 2016

ABADIGIZE balidde nga balimi anti bbiici ezaabadde ziggaddwa zimaze ne ziggulwa!

Bbiici1 703x422

ABADIGIZE mwe mulidde! Bbiici ezaabadde ziggaddwa oluvannyuma lw’abantu okufiirayo ku lwa December 26, zimaze ne ziggulwa.

Kati abadigize baddembe okucakalirayo kyokka bateereddwaako obukwakkulizo; Tewali kuwuga!

RDC wa Wakiso, Ying. Ian Kyeyune yategeezezza Bukedde ku Lwokuna nti bbiici ezimu ziriko wooteeri nga n’abantu baali baasasula dda okubeera mu bifo bino.

Noolwekyo tekiba kya bwenkanya okubagobamu bwe batyo ne babireka bikole kyokka ng’abagendayo tebakkirizibwa kugenda mu mazzi.

Kyeyune agamba nti bakkaanyizza ne bannannyini bbiici zino ne bakakasa nti balina obusobozi okubeera n’abadigize ne babatangira okugenda mu mazzi okuwuga kubanga ebifo ebimu biriko enkomera, eziziyiza abantu okugenda mu mazzi.

Yakiggumizza nti amateeka gonna ge bataddewo agaluhhamya bbiici zino ne bwe baba bagatuukirizza, tebalabayo awuga.

Ba RDC Kyeyune ne Rose Kirabira owa Wakiso bwe baasisinkanye, bannannyini bbiici baabawadde amateeka ge balina okugoberera okuli: okukkiriza abantu okukoma ku ssaawa 11:00 olweggulo ate ku ssaawa 3:00 ekiro babeera nga baggaddewo.

Bbiici erina okubeerako obupande obulabula abantu ku kuwuga era mu mazzi bateekwa okuteekawo olukomera abawuga we balina okukoma.

Walina okubeerawo ekitangaala ekimala, okukendeeza ebyuma n’okuteekawo emizindaalo kwe balabulira abantu abali mu kuwuga.

Anywedde omwenge takkirizibwa kuyingira mu mazzi kuwuga, abawuga balina okubeera ne jaketi ze bambala okubatangira okubbira.

Bino byonna okubeerawo kyavudde ku badigize abaagenze ku bbiici ez’enjawulo e Ntebe nga December 26 ne bafiirayo. 

Poliisi yannyuludde emirambo 13 mu nnyanja okwabadde n’egyabayizi bana ng’abamu baava ewaabwe nga teboogedde.

BANNANNYINI BBIICI BOOGEDDE:

David Kanoonya Newankubadde Lido Beach etuukirizza ebisaanyizo ebyasabiddwa, tebaweereddwa mukisa kukkiriza bantu kuwuga. Batulagidde okubeera abeegendereza ennyo obutakkiriza muntu yenna kuyingira mu nnyanja kuwuga wadde okulinnya obulinnya mu mazzi.

Mu bimu ku bye batadde mu nnyanja, mwe muli ebidomola ebiraga olukomera omuntu awuga w’alina okukoma.

Amyuka Town Clerk wa Ntebe, Dan Fred Lutaaya yagambye nti obuyinza obukkiriza bannannyini bifo bino okuddamu okukola obulungi buli mu ofiisi ya RDC kubanga ye yassaawo ekiragiro okuggala ebifo bino.

Ku Spenar Beach mu ttuntu ly’Olwokuna baabadde tebannaba kuggulawo. Kyokka Jonie Asiimwe owa bbiici eno yategeezezza nti bye babalagidde okukola babadde babirina bulijjo era tebaafunye kwekanga kwonna. “Tuli beetegefu okugenda mu maaso nga tuweereza bakasitoma baffe.”

Ku Lwokuka ku ssaawa 12:00 ez’omu ttuntu, abadigize baabadde batandise okweyiwa ku Lido Beach e Ntebe era twasanzeewo takisi ne Coaster nga zitikkula abantu nga bwe bayingira munda okweriila obulamu.

Akulira baalubbira, Rev. Samuel Otabua okuva mu Civil Aviation yategeezezza nti balina obukugu obumala mu mulimu guno era basobola bulungi okutaasa omuntu afunye obuzibu mu mazzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funsa 220x290

Eyali Bishop. w'e Moroto afudde...

EYALIKO Omusumba w’e Moroto Bp. Henry Apaloryamam Ssentongo 83, afudde.

Fdc21a700517 220x290

Kkooti egobye omusango gwa Besigye...

KKOOTI etaputa Ssemateeka ewadde Dr. Kiiza Besigye amagezi okugenda mu kkooti ezize oba eri omulamuzi eyamulayiza...

Gavana w’e Nairobi ayiwaayiwa ssente...

GAVANA w’ekibuga Nairobi e Kenya, Mike Sonko 44, ayiwaayiwa ssente n’okukozesa ebintu ebiriko zaabu gamumyukidde...

Jangu 220x290

Maama alaajanira omwana we gwe...

ABATUUZE abaakedde ku muyiggo gw’okunoonya omwana wa mutuuze munnaabwe abadde yabula wiiki bbiri, baakubiddwa encukwe...

Kolayo 220x290

Ebizuuse ku babbi be battidde e...

OMU ku babbi abana abattiddwa e Mutundwe abadde muvuzi wa sipensulo era bangi baasoose kumugaanira olw’enneeyisa...