TOP

Besigye yeesunga kusisinkana Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 5th January 2016

Akutte kaadi ya FDC Dr. Kiiza Besigye agambye nti yeesunze okusisinkana Pulezidenti Museveni akwatidde NRM kaadi.

Besi 703x422

Kiiza Besigye mu lukung'aana lwe yakubye e Nakaseke ng’anoonya akalulu.

Akutte kaadi ya FDC Dr. Kiiza Besigye agambye nti yeesunze okusisinkana Pulezidenti Museveni akwatidde NRM kaadi.

Besigye agambye nti, ayagala kusisikana Museveni mu kukubaganya ebirowoozo okugenda okubeera ku ttivvi nga January 15.

Agambye nti ayagala ayogere by’agenda okukolera Bannayuganda ne Museveni ayogere by’agenda okukola mu myaka emirala etaano. Besigye agambye nti Bannayuganda awo we bagenda okusalirawo ani asaanidde okufuga Uganda.

Agumizza abagwira nti, ye talina mutawaana n’abagwira abali mu Uganda. Agambye nti, Gavumenti ye egenda kubakkiriza okubeera mu Uganda singa banaagondera Ssemateeka w’eggwanga.

Besigye era ayogende okukikkaatiriza nga bw’agenda okutumbula ebyenjigiriza mu ggwanga.
Anenyezza Gavumenti obutafa ku bintu bye yasangawo era yawadde ekyokulabirako eky’eggaali y’omukka nga kati we yali eyita waamerawo dda omuddo.

Agambye nti, Bannayuganda tebawagira ye ng’omuntu wabula nabo beeyambe okweggya mu mbeera embi gye balimu nga bamulonda.

Abawagizi ba Besigye beemulugunyizza olw’abantu abatimbula ebipadde byabwe okusingira ddala mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Yabadde ku kyalo Kinyonga e Nakaseke. Besigye yategeezezza nti oluwangula Museveni agenda kumukkiriza addeyo mu kyalo Gavumenti emulabirire bulungi.

Yagambye nti, abantu bamuwa kaadi za NRM buli gy’ayita tagenda kuzisuula wabula ajja kuzitereka zibeere ekyafaayo.

Omubaka wa Lubaga North mu Palamenti Moses Kasibante ne Erias Lukwago Loodi meeya wa Kampala baategeezezza nti, akalulu ke bagendamu si kaabwe wabula ka kununula Bannayuganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi