TOP

Ababbi balumbye ekyalo ne batta abantu

By Deo Ganyana

Added 5th January 2016

Omugenzi yasoose kuteesa ne mukyala we ku nkuza y'abaana

Tem3 703x422

Ono yoomu ku battiddwa ababbi

EKIBINJA ky’abazigu ababadde babagalidde emmundu bazinze ekyalo Nakukuba okumpi ne Matugga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Bombo ne battirawo  abantu babiri n’okulumya abalala

Ettemu lino ly’abaddewo ku ssaawa ttaano ez’ekiro ekikee nga mubatiddwa mulimu Livingstone SSebuwufu myaka 26 omuvuzi wa Bodaboda mu kabuga ke Matugga wabula nga mutuuze we Ggombe  ne Godfrey Male ng’no yabadde avudde Kayunga

Abalala abalumiziddwa kuliko  Steven Kityo nannyini dduuka we we battidde abagenzi era nga bamubbyemu emitwalo kinaana zeyabadde yakamala okutunda mu mwanyi era ng’ono baamukubye ebigala by’emmundu mu mugongo.

Mu balalala mulimu Ronald Musasizi ng’ono yakubiddwa essasi mu kisambi era ng’apooceza ku kitanda eMatugga ,Mildred Nakate ,Grace Nakazzi ,ne Justine Nakabugo omutunzi w’ebbaala mu kitundu .

Ye Mamwandu wa Ssebuwufu Immaculate Nyangoma yategeezezza nga bwe yasembye okwogera n’omugenzi ku ssaawa munaana ang’amuwa eky’emisana n’amutegeeza nga bwayagala okugira ng’akoma awo okuzaala kubanga ayagala baana be beyagale era teyazzeemu kumulaba ppaka mukwano gwe weyamukubidde essimu ng’amubikira

Akulira poliisi ye Matugga Robert Tashobya yategeezezza nga bwe baafunye okumanyisibwa nti ekyalo kye Nakukuba kirumbiddwa ababbi b’emundu era ne bagezaako okugenda okutaasa abatuuze okutaasa abatuuze kyokka basanze babiri bamaze okuttibwa wabula n’ategeeza nti bali mu kulondoola mundu eyakoze ettemu lino bazuule ababadde bagikozesa bavunaanibwe .

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

She1 220x290

Abaafunye akabenje mu Ambulance...

Abaafunye akabenje mu Ambulance baziikiddwa

Rak1 220x290

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye...

Ssentebe w'ekyalo Laddu emukubye n'afiirawo e Rakai

Gat2 220x290

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana...

Asangiddwa ng'agenda okukwata abaana akkiriza omusango n'asaba ekisonyiwo

Mut1 220x290

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate...

Ssaabasajja aggaddewo ekisaakaate kya Maama Nnabagereka

Mala1 220x290

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA AFULUMYE...

Mulimu abayizi 5 abasinze mu buli ssomero mu disitulikiti ez’enjawulo. Tukugattiddeko n’ebifaananyi byabwe nga...