TOP

Kawempe erumbiddwa ekirwadde kya Kkolera

By Moses Lemisa

Added 5th January 2016

Abakulembeze mu Kawempe boogedde ebireese Kkolera mu kitundu kyabwe

Co2 703x422

Embeera eri e Kawempe

ABATUUZE b'omu muluka gwa Makerere III e kawempe balaajjanidde Gavumenti ebayambe ku kirwadde kya  cholera ekizinzeeko ekitundu kyabwe .

Kawempe erina emiruka 22 ng'egisinga ku gino giri mu ntobazi ssaako n'okuba n'emyala emingi n'omujjuzzo gw'abantu, mu kiseera kino  zooni ezimu zimaze okulumbibwa ekirwadde kya cholera ekiva ku bucaafu ekiwalirizza  abatuuze okulajjanira b'ekikwatako okusitukiramu okubafunira obujjanjabi.Zooni ezirimu ekirwadde kino kuliko Kibe , Kiggundu, Dobi ne ndala 

Abamu mu baana abaalumbiddwa ekirwadde kino baasobodde okuddusibwa muddwaliro ne bafuna obujjanjabi.

Bazadde b’abaana abaalumbiddwa ekirwadde kino baategeezezza nti kati abaana bano bagenda bafuna ku njawulo oluvannyuma lw’okufuna obujanjabi kyokka n’asigala ng’akyali mweralikirivu olw’obuccaafu obufumbekedde mu kitundu kyabwe.

Alex Ssentamu ow'omu Mayinja zooni yategeezezza nti mu munisipaali ezikola Kampala, Kawempe ekwata kisooka mu bucaafu nga n'abakulembeze baayo okuviira ddala ku Lc abasinga balabiseeko kati mu biseera by'obululu okulaga nti bakola .

Yagasseeko nti  Kasasiro abantu basula naye mu mayumba okumala wiiki nga balinda emmotoka za kcca ate ng'ezimu bannabyabufuzi okuli ba kansala baazifuula zakunoonyezako bululu nga kati be bafuga abazivuga ng'okusomba kasasiro mu kitundu kansala amala kudduumira.

Yagasseeko n'enzizzi eziri mu kawempe ntono ate ttaapu ezirimu  amazzi oluusi bagaseera nga n'abantu tebafunye kusomesebwa kumala ku bucaafu .

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Doreen Kabareebe yeeyubudde.

Kabareebe yeeyubudde. avudde mu by’okukunama kati azze mu bya kuyamba na kuddukirira abantu abatalina mwasirizi....

Naj1 220x290

Avuddeyo okuvuganya Ssemujju Nganda...

Avuddeyo okuvuganya Ssemujju Nganda agabudde Bishop Luwalira ekijjulo

Kit3 220x290

ISO efunye obujulizi ku baayokezza...

ISO efunye obujulizi ku baayokezza abayizi

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...