TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Muyimirize emisolo eginyigiriza baddereeva - Museveni

Muyimirize emisolo eginyigiriza baddereeva - Museveni

By Musasi wa Bukedde

Added 6th January 2016

PULEZIDENTI Museveni alagidde dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula atuule ne minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye bayimirize ekyokusasuza baddereeva ba takisi emisolo egibanyigiriza.

M7 703x422

Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Museveni alagidde dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi Ssemakula atuule ne minisita wa Gavumenti ez’ebitundu Adolf Mwesigye bayimirize ekyokusasuza baddereeva ba takisi emisolo egibanyigiriza. Yalagidde nti bwe yasisinkana abakulembeze b’ebiwayi bya takisi ebibiri okuli ekya KOTSA

NE UTRADA nga October 13, 2015 byamuloopera nti buli siteegi kwe bayimirira okutikka n’okutikkula abasaabaze ku nguudo basasuzibwa emisolo ate nga ne mu Kampala basasula. “Okusasuza aba takisi emirundi emingi emisolo si kya bwenkanya.

Kino bwe kikolebwa n’aba takisi ssente bazissa ku basaabaze baffe bamufunampola. Emisolo emingi givuddeko okulwana kw’aba takisi n’abasolooza ssente.

Nkulagidde okwatagane ne dayirekita wa Kampala musalire wamu amagezi ekizibu ekyo wakati wa gavumenti ez’ebitundu ne Kampala,” ebbaluwa ya pulezidenti bwe yalagidde.

Yagiwandiikidde minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Adolf Mwesigye nga December 17, 2015 n’awaako Katikkiro wa Uganda kkoppi, Minisita wa Kampala, Dayirekita wa Kampala n’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga.

Museveni era yayamba aba takisi bwe yabawa obukadde 100 mu buli kibiina zibayambe okwekulaakulanya. Yabayamba n’okwegatta n’alagira balondewo akakiiko akagenda okubayamba okutereeza omulimu gwabwe n’okubasonyiwa ebibonerezo byonna ebyali bizzizza baddereeva n’alagira abalina emisango basonyiyibwe n’emmotoka zaabwe ezaakwatibwa aba KCCA bazibaddize.

Kyokka ekiseera kino ate akakiiko ke bakkiriziganyaako okulonda kabatabudde ng’enjuyi z’abakulembeze ba takisi mu bibiina byabwe tebakkiriziganya ku mulimu akakiiko ke guteekeddwa okukola.

Kyokka ssentebe wa UTRADA Mustafa Mayambala yategeezezza nti akakiiko baakateekawo kuyamba kulabirira ku nzirukanya ya takisi mu Kampala okukakasa nti tewali dereeva addamu okunyigirizibwa.

Obutakkaanya mu kakiiko buwalirizza okuddamu okutwala ensonga eno mu ofiisi ya pulezidenti era ekiseera kyonna bagenda kuddamu okuyitibwa bakkiriziganye ku mulimu gw’akakiiko

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nwagi 220x290

Amazina n’ennyambala bizaalidde...

Amazina n’ennyambala Winnie Nwagi bye yayolesezza mu ndongo y'abayizi bimuzaalidde akabasa. Yeetondedde abazadde...

Kaputeeniwacranesonyangongaatonerakatikkiroomujoozigweyazannyiddemumuafcon1webuse 220x290

Abalina ebitone mukozese omukisa...

Abazannyi abalina kye mwekoledde muyambe ne bannammwe okwekulaakulanya nga bwe muteeka Uganda ku maapu

Naabagerekangaasomesaabaanamukisakaatewebuse 220x290

Abazade baakusomesebwa engeri y'okuyamba...

Okutendeka omwana mu Kisaakaate ate n'adda eka ng'abazadde tebamanyi ngeri ya kubalambikamu kubeera nga kwoza n'oyanika...

Yawenemunnengabakongolaenkoko1webuse 220x290

Mu kusala enkoko mwe ntandise bizinensi...

Emirimu gye nayitanga egy'abacaafu n'abataasoma mwe nfunye ssente ezinnyambye okutandika bizinensi endala n'okwetuusaako...

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo