TOP

Olumbe lw'omugagga Kasiwukira lwabizibwa leero

By Joseph Mutebi

Added 9th January 2016

Olumbe lugenda kubeera mu maka ga Kasiwukira e Muyenga mu Zooni ya Muyenga Hill era eggulo ku Lwokutaano poliisi yaleeteddwa okunyweza ebyokwerinda ng’eri wamu n’embwa zaayo 10.

Kasiwukira1 703x422

Omugenzi Kasiwukira

OLUMBE lw’omugagga Eriya Bugembe Ssebunya Kasiwukira lwa kwabizibwa leero (ku Lwomukaaga) era eggulo (ku Lwokutaano) kaabadde keetalo mu maka ge agasangibwa e Muyenga mu munisipaali y’e Makindye.

Agavaayo gagamba nti bategekedde abantu 1,000 nga bonna ba kaadi okubaawo ng’omusika Aaron Mpozza assibwako.

Okusinziira ku nsonda ezeesigika, Pulezidenti Yoweri Museveni ne baminisita be gattako Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga n’abakungu abalala okuva e Mmengo be bamu ku bayitiddwa.

 bamu ku bamulekwa ba asiwukira akati ye aron poza omusika Abamu ku bamulekwa ba Kasiwukira. Wakati ye Aaron Mpoza, omusika.

 

Ente ttaano zaamaze dda okusalibwa gattako embuzi 50 ezigenda okwokebwa omucomo. Bbiya bategese kuleeti 400 ate sooda kuleeti ziri 400. Kuno kwossa emyenge emizungu omuli wayini ne bwisiki ssaako omwenge omuganda ogwaggyiddwa mu kyalo e Nanziga mu ggombolola y’e Nsangi.

Olumbe lwakubeera mu maka ga Kasiwukira e Muyenga mu Zooni ya Muyenga Hill era eggulo ku Lwokutaano poliisi yaleeteddwa okunyweza ebyokwerinda ng’eri wamu n’embwa zaayo 10.

Ssentebe w’abagagga ba Kwagalana, Godfrey Kirumira ku Lwokutaano ku ssaawa 9:00 ng’ali wamu ne muganda wa Kasiwukira Ggayi baalagidde abantu abaabadde mu maka gano okufuluma wabweru ne bayisaamu embwa oluvannyuma ne bayita mu kuuma akakebera bbomu.

 

Kirumira yagambye nti Kasiwukira yali mmemba w’amaanyi nnyo mu kibiina kyabwe kino era abaana omusanvu be yaleka ne bannamwandu ababiri balina okubabeererawo mu mbeera yonna. Kirumira y’omu ku bakuza.

Okuteekako omusika kwakubaawo ku ssaawa 4:00 ez’oku makya bwe banaamala Ssaabalabirizi eyawummula Livingstone Mpalanyi Nkoyoyo n’abasumba b’Eklezia bamuwe omukisa. Oluvannyuma wajja kubaawo okugabula abagenyi abayite.

Tewajja kubaawo kugaba bya busika kubanga ekiraamo buli gwe kyagabira ekikye yakifuna dda era ne babikyusa ne mu mannya gaabwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...

Gaali 220x290

Ono booda agiyita mmotoka?

ONO taata w’abaana ekiragiro kya Pulezidenti eky’emmotoka eza buyonjo okutikka abantu basatu yakifunye bulala....

Bitone2 220x290

Nze sijja kuyimba kambawe akatono...

NG’ABAYIMBI beeyiwa mu situdiyo okukola ennyimba ezikwata ku kirwadde ku Coronavirus n’okukubiriza abantu okugoberera...

Kcca2 220x290

Oba adduse tutwale ekigaali n’emmaali...

OMUVUBUKA eyabadde atundira ennanaansi ku kigaali ebigere tebiba kumweyimirira ssinga kati ali mu mbuzi ekogga....

Njagala ananjagala nga bwendi

Njagala ali wakati w’emyaka 50 - 55, alina omulimu, omwetegefu okundabirira, okunfunira eky’okukola n’okugenda...