TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abantu 8 bafiiridde mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw'e Mbabara

Abantu 8 bafiiridde mu kabenje ka bbaasi ku luguudo lw'e Mbabara

By Ali Wasswa

Added 9th January 2016

Akabenje kano kaagudde mu kabuga Rwahi ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale ku ssaawa 9:30 ez’emisana ku Lwokutaano.

Wasswa1 703x422

Poliisi ng’etwala emirambo.

ABANTU munaana baafiiriddewo mu bbaasi ya kkampuni ya Kibungo bwe yalemeredde omugoba waayo n’eyingirira tuleera.

Akabenje kano kaagudde mu kabuga Rwahi ku luguudo oluva e Mbarara okudda e Kabale ku ssaawa 9:30 ez’emisana ku Lwokutaano.

Mu baafudde kuliko mutabani wa nnannyini bbaasi eno eyategeerekeseeko erya Musinguzi ate mu baalumiziddwa 26 kuliko muka nnannyini kkampuni ya Kibungo nga kati ajjanjabwa mu ddwaaliro.

Atwala poliisi mu kitundu kino, Patrick Mugasa, yagambye nti akabenje kaavudde ku mugoba wa bbaasi okulemererwa n’ayingirira lukululana.

Wabula omwogezi wa poliisi mu kitundu kino, Elly Matte yanenyezza abantu abeefudde abadduukirize ate ne banyagulula abasaabaze n’agamba nti omuze guno guteekeddwa okukoma.

Yagambye nti poliisi egenda kukola okunoonyereza ku bantu bano era buli anaakwatibwa n’ebintu by’omusaabaze wakusimbibwa mu kkooti aggulweko omusango gw’obubbi.

Emirambo gyatwaliddwa mu ggwanika ate abalwadde ne batwalibwa mu ddwaaliro okuli ery’e Kabale ne Itojo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...

Nara 220x290

Poliisi etadde ebiragiro ku bifo...

POLIISI eyisizza ebiragiro ku bizimbe n’ebifo awakung’aanira abantu abangi okwetangira abatujju abaakubye Kenya....

Pati 220x290

Abaasimattuse abatujju e Kenya...

EGGULO ku Lwokusatu mu biseera eby’okumakya, pulezidenti wa Kenya yayogedde eri eggwanga n’ayozaayoza ebitongole...

Vutu 220x290

Kamera gwe yakwata ng'abba essimu...

OMUVUBUKA eyanyakula essimu ku musaabaze mu takisi n'adduka nayo asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n'avunaanibwa...