TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnakawere bamulumirizza okubba omwana ku ssomero n’amukozesa obwayaaya

Nnakawere bamulumirizza okubba omwana ku ssomero n’amukozesa obwayaaya

By Musasi wa Bukedde

Added 15th January 2016

ABOOLUGANDA Joyce Magezi ne mukulu we, Moses Omagesi bakaayidde gwe baalumirizza okubba omwana waabwe.

Bbaala1 703x422

Nakacwa eyaggaliddwa.

ABOOLUGANDA Joyce Magezi ne mukulu we, Moses Omagesi bakaayidde gwe baalumirizza okubba omwana waabwe.

ku ssomero n’amukozesa obwayaaya emyaka esatu nga tebamanyi mayitire ge ne batuuka n’okubagoba mu kika nga babalumiriza okumusaddaaka.

Bino byabadde ku Poliisi e Lukaya mu Kalungu nga Sarah Nakacwa, nnakawere ow’emyezi esatu akanya kubeegayirira nti omwana yabadde yaakamufuna nga tebawuliriza.

Bannyonnyodde nti omwana ono, Sarah Adong yabbibwa mu 2013 ku ssomero lya St. Jude P/S e Lukaya gye yali asoma mu P4.

 

Bagamba nti oluvannyuma lw’omwana okubula olukiiko lw’ekika lwatuula mu Disitulikiti y’e Kumi gye bazaalibwa ne lusalawo bagobwe olw’okusaddaaka omwana bafune obugagga.

Bano baagambye nti muwala waabwe, Christe Nyago ow’e Nansana okumpi n’e Kampala ye yazudde Adong bwe yamusanze mu katale k’e Katooke ng’aliko by’agula n’amulinnya akagere okutuuka ewa Nakacwa.

Yatemezza ku Poliisi y’e Kawempe n’ekwata Nakacwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...