TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nambooze ajeemedde Mao ne yeegatta ku nkambi ya Lukwago

Nambooze ajeemedde Mao ne yeegatta ku nkambi ya Lukwago

By Hannington Nkalubo

Added 15th January 2016

OMUBAKA Betty Nambooze ajeemedde pulezidenti wa DP, Nobert Mao ne yeegatta ku nkambi ya Loodi Meeya Erias Lukwago era yalangiridde nti buli eyaweebwa tikiti y'ekibiina kyabwe mu Kampala ateekwa okuba wansi wa Lukwago.

Lumba 703x422

Okuva ku kkono: Ssemuju, Lukwago, Mulimamayuuni, Kasibante, Nambooze ne Kakande

OMUBAKA Betty Nambooze ajeemedde pulezidenti wa DP, Nobert Mao ne yeegatta ku nkambi ya Loodi Meeya Erias Lukwago era yalangiridde nti buli eyaweebwa tikiti y'ekibiina kyabwe mu Kampala ateekwa okuba wansi wa Lukwago.

Yagambye nti, Lukwago y’afuga Kampala era mu kibuga kye tewali alina tikiti ya DP ateekwa kujeemera Lukwago era akikola aba amaze budde nti avuganya naye akalulu tagenda kukwatamu.

Nambooze abadde yeeyawula ku Lukwango. Obutakwatagana bwatandikira ku Ttabamiruka wa DP eyatuula e Katomi, Lukwago bwe yagaana okumwetabamu kyokka Nambooze n'agenda era n’alondebwa ku bumyuka bwa Pulezidenti atwala Buganda.

Ekisinde kya Lukwago kyasalawo okwesala ku Nambooze nga tewali yeetaba mu nkuhhana ze e Mukono.

Lukwago ne tiimu ye babadde bayita ku nkuhhaana za Nambooze ne bagenda okuwagira Abdul Kiwanuka attunka ne minisita Ronald Kibuule mu Mukono South.

Ensonda zaategeezezza nti, akalulu kabadde katandise okukaluubirira Nambooze olw’okwekutula ku banne. Ku Lwokuna yeetabye ku lukuhhaana lw'omubaka wa Lubaga North, Moses Kasibante e Nakulabye n’alumba Beti Namisango Kamya era n’asaba abantu obutamulonda.

Lukwago yasabidde obululu abavuganya okutandikira ku mubaka Moses Kasibante (Lubaga North), Shifrah Lukwago, Kato Lubwama, Latif Ssebaggala ne Allan Ssewanyana.

Ye Kasibante yayambalidde Beti Kamya nti, “ Tusibiddwa mu makomera lwa bizibu by’abantu. Mubadde mugobaganyizibwa mu bifo we mukolera, mu butale, enguudo embi, ebyobulamu byonna bangi nsobodde okubayamba era munnonde mbalwanirire”, Kasibante bwe yagambye.

Ate Ssemujju Nganda yalumirizza Beti Kamya okukukuta ne Pulezidenti Museveni era tasobola kumugambako. "Beti Kamya yakwata essomero lye n’aliwa Pulezidenti Museveni ng’ensi eraba era tetusobola kumanya birala by’agenderako”, Nganda bwe yagambye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...