TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abalabirizi bayombedde mu lukiiko Bp. Ntagali ne yeekandagga

Abalabirizi bayombedde mu lukiiko Bp. Ntagali ne yeekandagga

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2016

ABALABIRIZI bayombedde mu lukuhhaana.

Lab2 703x422

Bp. Ntagali.

ABALABIRIZI bayombedde mu lukuhhaana lwabwe e Bungereza, Ssaabalabirizi Stanley Ntagali yeekandazze n’aluvaamu.

Olukuhhaana luno lwayitibwa Ssaabalabirizi Justin Welby owa Canterbury bateese ku bigenda mu maaso mu kkanisa n’okusalawo ku nsonga ez’enkizo. Olukiiko nga lutandika Ntagali yaleese ekiteeso ng’asaba ekkanisa bbiri; Episcopal Church USA ne Anglican Church of Canada bave mu lukiiko nga tebawaliriziddwa okutuusa nga beenenyezza.

Yagenze okulaba ng’olukiiko lugenda mu maaso ne bafundikira olunaku olwokubiri nga kye yasabye tekikoleddwa kwekusalawo n’afuluma olukiiko kyokka n’ategeeza nti, yavudde mu lukiiko naye ekkanisa ya Uganda teyeekutudde ku kkanisa y’e Canterbury.

Pulovinsi y’ekkanisa ya Uganda yayisa ekiteeso okuba nga tebeetaba wadde okukolagana n’amakanisa ago agakkiriza okugatta abantu ab’ekikula ekimu mu bufumbo era okukikuuma Ntagali yabadde alina kufuluma lukiiko luno.

Kino kyabadde kikkaatiriza olukuhhaana lwe baatuulamu e Dar-es-Salam olwa The Global Anglican Future Conference (GAFCON) bonna ne bassa kimu obutatabagana na makanisa agakkiriza okusembeza abantu bano.

Baasalawo okusaba abakulira ekkanisa okuteeka nnatti ku Episcopal Church USA ne Anglican Church of Canada olw’enkola y’emirimu ekontana n’ebiyigirizibwa mu Bayibuli.

Ntagali ng’amaze okwekandagga, ku Lwokuna olukiiko nga lukubirizibwa Ssaabalabirizi Justin Welby lwasazeewo okuyimiriza ‘The Episcopal Church eya Amerika okumala emyaka esatu nga tekiikirira Amerika mu byonna ebisalibwawo Ekkanisa Entukuvu.

Olukuhhaana lwafundikiddwa ku Lwokutaano.Lwabadde Bungereza gye lubumbujjidde okumala wiiki nnamba era Ssaabalabirizi Welby yasinzidde mu lukuhhaana lw’abamawulire n’asoma ekiwandiiko ekyabaddemu bye baasazeewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...