TOP

Poliisi eyodde 14 ababbira mu Kampala wakati

By Musasi wa Bukedde

Added 16th January 2016

Ekikwekweto kya Poliisi kiyodde 14

Bi2 703x422

Abamu ku basajja poliisi ya CPS mu Kampala be yayodde.

POLIISI ya CPS ekoze ekikwekweto n’eyoola abasajja 14 abeenyigira mu kusala ensawo ku nguudo z’omu Kampala ez’enjawulo. Akulira poliisi ya CPS, Ronald Mugabi yagambye nti, ekikwekweto kino kyakoleddwa ku Mini Price, ppaaka ya bbaasi, ku mwala gw’e Nakivubo, Kikuubo, Luwum Street ne Ben Kiwanuka ng’abaakwatiddwa bonna bamanyiddwa mu kusala ensawo. “ Twanyweza ebyokwerinda ng’ennaku enkulu zisembedde.

Wabula abamu ku babbi n’abasala ensawo bwe baalaba ng’embeera ekaaye ne badduka era babadde bakomyewo kyokka baasanze abaserikale ne babakwata” Mugambi bwe yategeezezza.

Yagambye nti, abantu babadde bagenda ku poliisi nga beemulugunya olw’abasala ensawo okubateega ku nguudo ne babba naddala okuliraana omwala gw’e Nakivubo kwe kusalawo okukola ekikwekweto kino.

Yategeezezza nti abamu ku babbi abaakwatiddwa kuliko; Dan Mubi, Abdul Ssekito ‘Namanve’, Richard Akizibwe ng’ono yeeyita ‘Muserikale’, Emma Mwanje, Issa Ssebuggwaawo ne Musa Mugwe.

Abalala ye Julius Agaba, Kakeeto Kibaasa, Collins Musajja, Ntungo Ssekikubo, Ronald Ssentongo, John Kaddu, Muhammad Kawonawo Lukyamuzi, Saidi Matovu ne Suleiman Bukenya. Yagambye nti ekiyambye okukendeeza ababbi ku nguudo z’omu Kampala mu biseera bino bangi baakwatiddwa ne batwalibwa mu kkooti ne bavunaanibwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Visionagmndijjo2 220x290

Abalina emigabo mu kkampuni ya...

Abalina emigabo mu kkampuni ya Vision Group basiimye enkulaakulana etuukiddwaako omwaka guno.

Muteesa14 220x290

Mutesa yaggulawo enkolagana ya...

Okufuuka Pulezidenti, Ssekabaka Mutesa yalondebwa Palamenti, n’amyukibwa Sir. William Wilberforce Nadiope Kajumbula...

Gira 220x290

Ssentebe bamukutte lubona ng'asinda...

Ssentebe wa LCI akwatidwa lubona ng'anyumya akaboozi k'ekikulu ne muk'omutuuze.

Muteesa1 220x290

OKUJJUKIRA SSEKABAKA MUTESA II;...

Essimu gye yankubira lwe yakisa omukono nkyagijjukira

Sisiri 220x290

Siisiri w’abakazi bamukubyemu ttooci...

ABAKUGU bazudde ng’abakazi okuyimba siisiri mu buliri kijja lwa butonde. Bagamba nti kiva ku bwagazi omukazi bw’afuna...