TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bazudde vvulugu mu kakiiko ka Gavt. ak’ettaka’

Bazudde vvulugu mu kakiiko ka Gavt. ak’ettaka’

By Musasi wa Bukedde

Added 17th January 2016

Akakiiko akakuuma ettaka lya Gavumenti kalimu emivuyo

Gav2 703x422

John Muwanga

OMUBAZI omukulu ow’ebitabo bya Gavumenti (Auditor General), John Muwanga asonze ku mivuyo egiri mu kakiiko akakuuma ettaka lya Gavumenti n’ategeeza nti kyetaagisaawo etteeka eppya eriruhhamya enkola y’emirimu gyako.

Muwanga agamba nti emivuyo mulimu; Okugaba liizi ku ttaka lya Gavumenti mu ngeri emenya amateeka, akakiiko obutaba na ligyesita ya mulembe eraga ettaka lya gavumenti gye liri, obutaba na biwandiiko bimala ku ngeri ettaka lino gye litundibwako, obutamanya ttaka litali kkube mu kyapa, obutamanya bungi bwa ttaka likozesebwa na litakozesebwa, n’ebirala.

Yawadde ekyokulabirako nti waliwo ettaka lya gavumenti akakiiko lye kaagabako liizi eri ‘yinvesita’ alima ebimuli kyokka oluvannyuma ne limuggyibwako n’awaaba mu kkooti. “Ekyetaagisa ye gavumenti okuleeta etteeka erirung’amya emirimu gy’akakiiko kayo ak’ettaka okwewala ebintu nga bino,” bwe yakkaatirizza.

Muwanga yagambye nti kino kigenda kuyamba okukuuma ettaka lya gavumenti . Muwanga era yagambye nti waliwo okulwanyisibwa kw’okutandika kwa pulojekiti za gavumenti ng’entabwe eva ku kasoobo akali mu kuliyirira bannyini ttaka pulojekiti zino we ziba zigenda okukolerwa oba okuyita.

Yagasseeko nti kino oluusi kijjawo ng’abantu bagaanyi ssente omubalirizi omukulu owa gavumenti (Government Chief Valuer) z’aba asazeewo okuwa bannyini ttaka n’abeebibanja. Kino nti era kivaako abantu okutandikirawo okulwanyisa pulojekiti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Plane22 220x290

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi...

Essanyu nga Uganda ekwasibwa ennyonyi

Ssaavanaluvule1 220x290

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi...

Pulomoota eyafeze abadigize abayimbi ne batalabikako alula!

Img2247 220x290

Eyatutte omwana okumutuuma amannya...

OMUWALA aludde ng'alimba omuvubuka nga bw'alina olubuto lwe aliko omwana gw'amutwalidde wabula ne gamwesiba bwe...

Throw 220x290

Abavubira ku nnyanja Kyoga basatira:...

ABAVUBI ku nnyanja Kyoga basattira olw’amagye okulangirira nti essaawa yonna gayingirawo okufuuza envuba embi....

Malemabiriizi9 220x290

Mabirizi azzeeyo mu kkooti ku bya...

MUNNAMATEEKA Male Mabiriizi azzeeyo ku kkooti Ensukkulumu n’ateekayo omusango ayagala esazeemu ensala y’Abalamuzi...