TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eyigga eyayiiridde mukazi we n'omwana asidi

Poliisi eyigga eyayiiridde mukazi we n'omwana asidi

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2016

Imran Kaliisa, ow’omu Barracks Zooni e Makindye, teyakomye ku mukazi we, Justine Nyamugisha wabula n’omwana we, Shamim Kemigisha yamutwaliddemu nga bombi bali Mulago gye bajjanjabirwa.

Londayo 703x422

Nyamugisha ng’ali mu ddwaaliro e Mulago . Ku kkono ye mwana waabwe Kemigisha eyayidde mu mugongo.

POLIISI enoonya omusajja eyayiiridde mukyala we asidi ng’amuteebereza okwenda.

Imran Kaliisa, ow’omu Barracks Zooni e Makindye, teyakomye ku mukazi we, Justine Nyamugisha wabula n’omwana we, Shamim Kemigisha yamutwaliddemu nga bombi bali Mulago gye bajjanjabirwa.

Era asidi yatwaliddemu ne muliraanwa waabwe, Zam Nalumansi n’atwalibwa mu ddwaaliro e Nsambya.

Byabaddewo ku ssaawa 4:00 ez’ekiro Nyamugisha bwe yagenze ewa muliraanwa we okulaba amawulire yagenze okudda nga bba engoye ze zonna azookezza ng’akozesa asidi.

Yazzeeyo ewa muliraanwa we gye yamusanze ne batandika okuyomba ng’akutte jjaaga omwabadde asidi n’amumuyiira n’akwatiramu n’omwana eyabadde ayagala okutaawuluza oluyombo luno ne muliraanwa waabwe.

Oluvannyumba baaleese emmotoka ne babatwala mu malwaliro ag’enjawulo. Omusajja yadduse era poliisi emunoonya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tulu 220x290

Mwegendereze siriimu akyaliwo -Minisita...

MINISITA w’obulimi, obulunzi n’obuvubi Vincent Ssempijja ajjukizza abavubuka nti siriimu akyaliwo akyegiriisa n’abasaba...

Pala 220x290

‘Kirungi okuyamba abali mu bwetaavu’...

BANNADDIINI okuva mu kigo kya Blessed Sacrament Kimaanya mu ssaza ly’e Masaka badduukiridde abakadde abatalina...

Batya1 220x290

‘Mufe ku mitima so si nnyambala’...

ABAKRISTU b’e Lukaya mu disitulikiti y’e Kalunguku Lwomukaaga baasuze mu Klezia nga batenderezza Katonda mu Mmisa...

Papa 220x290

Obukadde 600 nakozesaako 70 endala...

Town Clerk w’Eggombolola y’e Gombe, Sulaiman Kassim asobeddwa mu lukiiko RDC w’e Wakiso, Nnaalongo Rose Kirabira...

Untitled4 220x290

Ssegirinya waabwe lwaki munsibako...

KANSALA Muhammadi Ssegirinya ‘’Ddoboozi lya Kyebando’’ yeewozezzako ku by’omukazi gw’apepeya naye mu Amerika.