TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde akulira Poliisi ya CPS agobeddwa mu office.

Abadde akulira Poliisi ya CPS agobeddwa mu office.

By Musasi wa Bukedde

Added 19th January 2016

Abadde akulira Poliisi ya CPS agobeddwa mu office.

Mu2 703x422

Abadde akulira Poliisi ya CPS Ronald Mugabi agobeddwa mu office

ABADDE akulira poliisi ya CPS Ronald  Mugabi agiddwa mu ofiisi n’asindikibwa mu kitongoleekinoonyereza ku misango gya poliisi  ekya Professional Standards Unit (PSU) basobole okumunoonyerezaako kun kola ye mirimu gye.

Kino kididridde Mugabi ali ku ddaala lya Assistant Superintendent of Police   okukulemberamu basirikale banne ne bagenda ku Nasser Road ku  Lwokutaano  nebakwata ebitabo bya Manifesto ebyali bikubibwa oluvannyuma lwokutegeezebwa nti  birimu obubaka obuvumirira Gavumenti.  

Wabula aba FDC bavuddeyo  ne batuukirira omuduumuzi wa poliisi Gen Kale Kayihura nga b’emulugunya nti ebitabo poliisi byeyagala okutwala bwebiri Manifesto zaabwe ze baagala okugabira abantu nga tezirina. Buzibu bwonna.

Oluvannyuma lwa ba FDC okwemulugunya Gen Kayihura yalagidde Mugabi ssaako n’akulira abakessi (Crime Intelligence) Moses Lukonge  akwatibwe era ekitongole kya PSU kimunoonyerezeeko olw’okukola ensobi mukukola emirimu n’obutasooka kwe tegereza ebiki ebyabadde bikolebwa ne baggalirwa.  

Guno gwemulundi ogw’okubiri nga Mugabi afuna ebizibu ng’ali ku mirimu ng’okwasooka yavunaanwa okukuba abantu abasasi omu n’afa bwe yali OC wa poliisi ye Kireka  mu 2014 nga abadde yakafuulibwa OC Station emyezi etaano egiyise.

Oluvannyuma  olwokugoba Mugabi mu ofiisi Omuduumuzi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano  Abaasi Byakagaba yasaeewo okukola enkyukakyuka mwe yalondedde  ASP Gerald Atuhaire  abadde akulira ebikwekweeto ku poliisi e Katwe  n’afuulibwa Oc Station wa CPS okudda mu bigere bya Mugabi .

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aid4 220x290

'Bannayuganda munyiikire okugaba...

BANNAYUGANDA bakubiriziddwa okwongera amaanyi mu kugaba omusaayi naddala mu biseera bino ng’abaana b’amasomero...

Besigyenganyumyanedr 220x290

Omulamuzi talabiseeko mu musango...

OMUSANGO oguvunaanibwa omusomesa w’e Makerere, Dr. Stella Nyanzi, gwongezedwaayo okutuusa nga 19, December, 2018,...

Developmentchanneldirectorcharleslambertisarrestbypolicearrestoverarrest 220x290

Omunigeria avunaanibwa ogw'obufere...

OMULAMUZI wa kkooti e Nakawa azzeemu n’alagira Omunigeria, Charles Lambert Nwabuikwu, azzibweeyo mu kkomera e Luzira,...

Bobi 220x290

Bobi Wine akukkulumidde Poliisi...

OMUBAKA Robert Kyagulanyi amanyidwa nga Bobi Wine ayombedde e Kayunga olwa kye yayise effujjo lya poliisi okumuwendulira...

Gololaweb 220x290

Golola awonye akatebe

Edward Gololawonye akatebe, bw'aweereddwa omulimu mu Kitara FC eya Big League