TOP

Yunivasite y'e Makerere etikkidde abayizi

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2016

Ku mukolo gw’okutuuza Polof. Ezra Suruma ku Mmande, amyuka Cansala John Ddumba Sentamu yategeezezza nti abayizi bagenda kufuna amabaluwa gaabwe oluvannyuma lw’omwezi gumu nga bamaze okutikkirwa.

Benteke 703x422

Abamu ku bayizi abaatikkiddwa.

CANSALA wa Makerere omuggya Polof. Ezra Suruma alabudde abayizi abatikkirwa okussaayo omwoyo ku bye basoma babiteeke mu nkola basobole okukakasa ensi nti bye basoma tebafunayo mabaluwa wabula babiyiga.

Bino yabyogeredde Makerere eggulo ng’atikkira abayizi 2,300 kw'abo 34 baafunye ddiguli ey’okusatu ku lunaku olwasoose ku matikkira g’omwaka guno agagenda okumala ennaku 4 mwe bagenda okutikkirira abayizi bonna awamu 14,000.

Abaatikkiddwa eggulo kwabaddeko abasomye amateeka, Bayinginiya, abasomye ebyobulimi n’okujjanjaba ebisolo.

Ku mukolo gw’okutuuza Polof. Ezra Suruma ku Mmande, amyuka Cansala John Ddumba Sentamu yategeezezza nti abayizi bagenda kufuna amabaluwa gaabwe oluvannyuma lw’omwezi gumu nga bamaze okutikkirwa.

Suruma yakuutidde abayizi be yatikkidde okweyambisa obukugu bwe bafunye okuweereza eggwanga era n’abategeeza nti kati bafuuse kyakulabirako eri abaana abato.

Yategeezezza nti Uganda nsi ejjudde emikisa abasomye gye bayinza okukozesa okulongoosa embeera z’abantu era tewali mulala agenda kukikola okujjako bo abasomye.

Ddumba yategeezezza abazadde nti omwaka oguwedde Makerere yatuuse ku birungi bingi okwabadde n'okutongoza kkampuni egenda okukola emmotoka era 2018 w'aanatuukira nga bafulumya emmotoka ezikolebwa mu Uganda.

Yayongeddeko nti Yunivasite esobodde okukola ebyuma ebikebera amawugwe (Maama Hope) singa omuntu naddala abaana babeera balwadde lubyamira basobola okukozesa akuuma ne bamukebera n’asobola okufuna obujjanjabi obwetaagisa, kwe kusaba abayizi babeere baamazima mu bye bakola.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?