TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Gwe banjudde n'alimba empeta bamummye omukazi-Omuko ebintu abizzizzaayo

Gwe banjudde n'alimba empeta bamummye omukazi-Omuko ebintu abizzizzaayo

By Ponsiano Nsimbi

Added 20th January 2016

Gwe banjudde n'alimba empeta bamummye omukazi-Omuko ebintu abizzizzaayo

Muk3 703x422

Kasozi n’omugole Sylivia Namirembe ku mukolo gw’okwanjula.

 

OMUKO yabuuse mu mmotoka ng’ekyatokota, abazadde ne bamanyiirawo nti omutawaana guzze!

Baabadde bakyamwaniriza, n’abeesooka nti: Nkimye mukazi wange! Baamukkakkanyizza ne bamuyingiza eddiiro nga bwe bamusaba ensonga azikwate mpola kubanga kyabadde kigenda kulabika bubi, amaka agaabaddemu omukolo gw’okwanjula ku Lwomukaaga oluwedde ate okugwamu ensasagge.

Bino byonna omuko Mohammed Kasozi yabadde takyabiwulira era yeekandazze nga bw’aluma n’emba nti: Njagala mukazi wange, bwe mumulemera nga mumpa buli kintu kye nnabawadde!

Nnaalongo ne Ssaalongo Nathan Ssekaayi baabadde bakyesisiggiriza, omuko kwe kulagira abavubuka be yabadde azze nabo, okutandika okutikka ebintu, kimu ku kimu nga bagoberera ebiragiro bya Kasozi.

Baatandikidde ku ntebe ez’omu ddiiro (sofa), olwo ne balumba entebe ey’olugalaamirizo gye yabadde atonedde taata!

Yatandise okusonga ku buli kintu kye yabaleetedde okuli akasawo ka ssukaali, akasawo k’omuceere ekifaananyi kya Ssaabasajja n’ekya Nnaabagereka, Maapu ya Buganda wamu ne Satifukeeti z’Obwakabaka; olwo abazadde ne bamanya nti takyatembeka!

Okumanya omuko yazze amazeeko, yaleseeyo emmotoka ya buyonjo gy’atera okutambuliramu bulijjo n’ajjira mu Kabangali era kuno obwedda kwe batikka ebintu era abaabadde babirabira ewala baasoose kulowooza nti Ssaalongo alumbiddwa bawannyondo ba kkooti.

Ssaalongo ne Nnaalongo baayise muwala waabwe Slyvia Namirembe y’aba akkakkanya ‘Bba’ kyokka omuwala yabadde agezaako okumuwooyawooya n’amwambalira nti: Ku bibiri londako kimu, okukutuuza mu mmotoka eyo tugende, oba okutikkako ebintu bye nnaleese byonna!

Abatuuze b’e Nakuwadde – Bulenga baakung’aanye okulaba ekigedde ewa Ssaalongo era okwetegereza nga ye muko eyabadde aloolera mu kidaala ennaku ssatu emabega.

Baamuwabudde nti ekyo ky’akola tekikolebwa ku buko, wabula n’abaanukuza ekkabyo nti: Twakalaba obuko!

 mugole amirembe nga yeecwacwana eggulo Omugole Namirembe nga yeecwacwana eggulo.

 

AKAKWAKKULIZO K’EMPETA KAZIZADDE 

kasozi ne Namirembe baalabagana mwaka guwedde era ne basiimagana, wabula omuwala n’ategeeza omusajja nti tebayinza kugenda mu maaso okuggyako ng’agenze mu bazadde.

Kasozi yasooka kukyala mu August 2015 era ne bakkaanya okwanjula kubeerewo nga December 19, ate embaga ebeerewo enkeera nga December 20, 2015.

Kyokka omuko yawandiika ebbaluwa mu November ng’asaba emikolo gyongerweyo kimuwe akadde okwetegeka obulungi kubanga okwanjula n’embaga byalina kubeerawo mu wiiki emu.

Yabasaba okwanjula kussibwewo nga January 16, 2016 ate embaga ebeerewo enkeera ku Ssande nga January 17, mu Kkanisa ya Wood Word of God e Nakuwadde – Bulenga.

Okwanjula kwatambudde bulungi, kyokka ne wabaawo akagugulano ng’abako banaatera okusiibula. Kasozi yabadde ayagala agende ne mukaziwe ng’agamba nti okuva lwe bakkirizza okumuzaala, omukazi yafuuse wuwe kyokka abazadde ne bakigaana nga bagamba nti kimenya entegeeragana gye baalina mu kusooka n’amateeka g’Ekkanisa.

Okuva ku Lwomukaaga, Kasozi abadde akubira bakoddomibe amasimu n’abazadde ng’abapeeka okusindika Namirembe atandike okufumba kubanga mukaziwe bwoya! Baamubuuzizza lwaki tayagala kusooka kugattibwa nga bwe kyakkiriziganyizibwako, n’ategeeza nti ssente ezandikoze embaga zaggweeredde mu kwanjula.

Baamutegeezezza nti bagenda kumugumiikiriza okutuusa lwalifuna ssente ezitegeka embaga, kyokka n’akigaana ng’agamba nti ssente zijja kwanguwa okuwera nga bali wamu ne Namirembe.

Beebuuzizza ku Namirembe naye n’agaana okugenda ewa Kasozi nga tasoose kumukuba mpeta kubanga ayinza okuba ne bye yeetangira ebiyinza okumufuukira ekizibu mu maaso awo. Abazadde nga tebeesazeemu baasazeewo okusimba nnakakongo era Kasozi bwe yalabye beeremye, kwe kukola olulumba.

 abangali omuko kwe yatisse entebe ze yabadde atutte mu kwanjula nga yeggyawo Kabangali omuko kwe yatisse entebe ze yabadde atutte mu kwanjula nga yeggyawo.

 OMUKO ADDUKIDDE MU KISENGE KYA MAAMA

Waabaddewo akasattiro ng’omuko yeekengedde ekibinja ky’abatuuze abaabadde baagala okutwalira amateeka mu ngalo bamukube nga bamulangira ‘obukopi’, n’adduka ne yeesogga ennyumba era mu butanwa yeesibidde mu kisenge kya Maama amuzaalira omukazi. Eby’embi, maama naye yasangiddwa ali mu kisenge nga mw’asinziira okuwulira ensasagge eri mu luggya.

Maama yabuuse n’alinnya akatanda aka waggulu, n’aleka omuko nga yeekukumye wansi w’ekitanda. Maama yayanguye n’abandula oluggi era Ssaalongo ne batabani be ne bayisa omuko emmanju ne bamukukusa okumutwala mu maka ga Drake Kitandwe ali ku muliraano. Ab’akakiiko ka LC I baakung’aanye ne bakkakkanya abatuuze era emmotoka eyakimye ebintu n’esimbula wabula yatutte ntebe zokka ezaasangiddwa nga zimaze okutikkibwako.

Omusumba Samuel Luwandagga owa Nakuwadde Christian Fellowship yagambye nti Kasozi bwe yateese abazadde ku nninga, baakoze Omugole Namirembe nga yeecwacwana eggulo. okunoonyereza ne bakizuula nti alinayo omukazi omulala e Mityana era baagattibwa empeta. Kasozi yali Musiraamu kyokka n’alokoka era olumu yeeyita Musumba.

Abooluganda lw’omukazi baalumirizza omuko obutabeera mwesimbu era yabateeka ne mu kaseera akazibu wiiki ewedde nga poliisi emukutte ku misango gy’okulyazamaanya ensimbi 6,500,000/= era abamu ku booluganda beenyigira ne mu kumweyimirira ku Lwokutaano nga batya okuswala nga talabiseeko ku mukolo gw’okwanjula ogwalina okubaawo enkeera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bi 220x290

Bebe Cool agenze mu Amerika kusakira...

Bebe Cool agenze mu lukung’ana lw’ekibiina ky’amawanga amagatte (UN) kusakira balwadde bakafuba ssente za bujjanjabi....

Abasuubuzingabalimukatalekakirekamainmarketwebusebig 220x290

Mutuzimbire akatale akali ku mutindo...

Akatale ka myaka 90 wabula tekalina mifulejje wadde bakasitoma we bayita.

Kyotera1 220x290

Abazadde balumbye essomero lw'abaana...

POLIISI e Kyotera eggalidde dayirekita w’essomero lya Kyotera Infant Pri.Sch, ne Heedimasita w’essomero lino ng...

Mulironnyumba2 220x290

Omuliro gw'okyezza enju y'omusawo...

NABBAMBULA w’omuliro asaanyizzaawo amaka g’omusawo ebintu bya bukadde ne bitokomoka okubadde n’emmotokka.

Preg1webuse 220x290

Nkole ntya okwewala omwenge kuba...

Olubuto lunjoyesa omwenge naye mmanyi gwa bulabe eriomwana ali munda. Nkole ntya okugwewala?