TOP

Ssekandi akubye Buganda akaama

By Muwanga Kakooza

Added 20th January 2016

Ssekandi era yasabye Bannayuganda okwewala effujjo mu kukola kampeyini okulonda kusobole okuba okw’emirembe ng’agamba nti bwe kunaaba kuwedde abantu balina okusigala nga bali bumu.

Seka 703x422

Ssekandi ng'ayogerako eri abawagizi ba NRM e Nyendo - Masaka. EKIF: MUWANGA KAKOOZA

OMUMYUKA wa pulezidenti Edward Kiwanuka Ssekandi  asabye abantu b’omu Buganda okunywerera ku Pulezidenti Museveni olw’okuba ye yeyazzaawo Obwakabaka n’okubaddiza ‘Ebyaffe’ ebirala.

Ssekandi era yasabye Bannayuganda okwewala effujjo mu kukola kampeyini okulonda kusobole okuba okw’emirembe  ng’agamba nti  bwe kunaaba kuwedde abantu balina okusigala  nga bali bumu.

Ssekandi bino yabyogeredde mu Nyendo e Masaka ng’aggulawo ofiisi ya NRM  n’agamba nti abantu b’omu Buganda obuteerabira Pulezidenti Museveni gwe yagambye nti ye yazzaawo Obwakabaka  n’okubaddiza ebyabwe.

Yategeezezza nti gavumenti ya NRM ekoze  kinene okutereeza ebyasoba ku gavumenti endala ezaavaako n’anenya ab’oludda oluvuganya olw’okugikolokotanga olutatadde ne bw’eba erina ebirungi by’ekoze.

Yagambye nti Bannayuganda okuwuliriza  n’okussa ekitiibwa mu birowoozo by’abalala beewale effujjo n’ebikolwa by’okukuma omuliro mu bantu okulonda kusobole okutambula obulungi.

Yayongedde nti abantu balina okwewala ebikolwa by’okusiiga bannaabwe abeesimbyewo enziro n’asaba ab’oludda oluvuganya okwenyigira mu by’obufuzi ebyekintu kiramu ebinaasobozesa Bannayuganda okusigala obumu okulonda ne bwe kunaaba kuwedde.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Jip3 220x290

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu...

Bobi Wine bamusondedde ddoola mu Amerika

Rem2 220x290

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga...

Halimah Namakula ayogedde ku nsonga ya Rema ne Kenzo omulundi gwe ogusookedde ddala

Tip2 220x290

Halimah Namakula ayingiddewo okuva...

Halimah Namakula ayingiddewo okuva mu America yesunga mukolo gwa Rema

Kylianmbappe1 220x290

Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi...

KYLIAN Mbappe yandiryawo Neymar ng’omuzannyi asinga ebbeeyi mu nsi yonna.

Kip2 220x290

Maama afudde n’abaana be

Maama afudde n’abaana be