TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Olutalo lwa Kato Lubwama ne Lukyamuzi luwanvuye: Agaanyi okumwetondera

Olutalo lwa Kato Lubwama ne Lukyamuzi luwanvuye: Agaanyi okumwetondera

By Musasi wa Bukedde

Added 20th January 2016

Bino Kato Lubwama yabitegeezezza eggulo bwe yabadde ayitiddwa ab’akakiiko k’ebyokulonda okuwuliriza ensonga zaabwe ne Lukyamuzi.

Lukyamuzi 703x422

Kato Lubwama (ku kkono). Ku ddyo, Lukyamuzi ne puliida we mu ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda leero ku Lwokusatu

EYEESIMBYEWO ku kifo ky’omubaka wa Lubaga South era munnakatemba Kato Lubwama agaanye okwetondera gw’avuganya Ken Lukyamuzi.

Bino Kato Lubwama abyogeredde mu kakiiko k'ebyokulonda gye yayitiddwa ab’akakiiko okuwuliriza ensonga zaabwe ne Lukyamuzi.

Gye buvuddeko, Lukyamuzi omubaka wa Lubaga South era ng’ayagala okuddayo mu palamenti yeekubidde enduulu mu kakiiko k’ebyokulonda n’aloopa Kato Lubwama n’abawagizi be okumuvuma entakera ssaako n’okumulemesa okukuba enkung'aana ze ng’anoonya akalulu.

Lukyamuzi yasabye akakiiko k’ebyokulonda okumuwa abakuumi atambule nabo ng’agamba nti obulamu bwe buli mu matigga olw’abawagizi ba Kato abamutiisatiisa okumukolako obulabe. Kato mu kwewozaako yagambye nti ye talaba nsonga lwaki yeetondera Lukyamuzi kuba ye ng’omuntu talina kye yali amukoze.

Yagasseeko nti n’eky’abawagizi be okutiisatiisa Lukyamuzi kikyamu kubanga Lukyamuzi w’abeerera mu nkuh− haana, ne Kato abeera mu kakuyege we.

Amyuka omwogezi w’akakiiko k’ebyokulonda Paul Bukenya yategeezezza nti akakiiko kalina omulamuzi wa kkooti enkulu atuula ku ofiisi zaabwe era y’alamula ensonga z’abeesimbyewo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sema 220x290

Mesach ekivvulu kimuwuuba

OMUYIMBI Mesach Ssemakula amanyiddwa nga Golden Papa kati gwe baawadde n’ekitiibwa kya ‘‘Sir’’ bw’oba omunoonya...

Funa 220x290

Square Milez ne Deborah Kandi temwekola...

ABAYIMBI Deborah Nakandi eyeeyita Deborah Kandi ne Kisaakye Micheal Joseph amanyiddwa nga Square Milez ebintu bye...

Baba 220x290

Swengere ne Maama Kalibbala bali...

HUSSEIN Ibanda amanyiddwa nga Swengere ne munnakatemba munne Maama Kalibbala bali luno.

Lap2 220x290

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka...

Owoomuluka awerennemba na gwa ttaka

Siralexferguson1132188 220x290

Aba ManU bampisaamu amaaso - Sir...

EYALI omutendesi wa ManU, Sir Alex Ferguson ayogedde ku mbeera eyali ttiimu ye gy'erimu n'agamba nti ekwasa ennaku....